Romans 8 – NIV & LCB

New International Version

Romans 8:1-39

Life Through the Spirit

1Therefore, there is now no condemnation for those who are in Christ Jesus, 2because through Christ Jesus the law of the Spirit who gives life has set you8:2 The Greek is singular; some manuscripts me free from the law of sin and death. 3For what the law was powerless to do because it was weakened by the flesh,8:3 In contexts like this, the Greek word for flesh (sarx) refers to the sinful state of human beings, often presented as a power in opposition to the Spirit; also in verses 4-13. God did by sending his own Son in the likeness of sinful flesh to be a sin offering.8:3 Or flesh, for sin And so he condemned sin in the flesh, 4in order that the righteous requirement of the law might be fully met in us, who do not live according to the flesh but according to the Spirit.

5Those who live according to the flesh have their minds set on what the flesh desires; but those who live in accordance with the Spirit have their minds set on what the Spirit desires. 6The mind governed by the flesh is death, but the mind governed by the Spirit is life and peace. 7The mind governed by the flesh is hostile to God; it does not submit to God’s law, nor can it do so. 8Those who are in the realm of the flesh cannot please God.

9You, however, are not in the realm of the flesh but are in the realm of the Spirit, if indeed the Spirit of God lives in you. And if anyone does not have the Spirit of Christ, they do not belong to Christ. 10But if Christ is in you, then even though your body is subject to death because of sin, the Spirit gives life8:10 Or you, your body is dead because of sin, yet your spirit is alive because of righteousness. 11And if the Spirit of him who raised Jesus from the dead is living in you, he who raised Christ from the dead will also give life to your mortal bodies because of8:11 Some manuscripts bodies through his Spirit who lives in you.

12Therefore, brothers and sisters, we have an obligation—but it is not to the flesh, to live according to it. 13For if you live according to the flesh, you will die; but if by the Spirit you put to death the misdeeds of the body, you will live.

14For those who are led by the Spirit of God are the children of God. 15The Spirit you received does not make you slaves, so that you live in fear again; rather, the Spirit you received brought about your adoption to sonship.8:15 The Greek word for adoption to sonship is a term referring to the full legal standing of an adopted male heir in Roman culture; also in verse 23. And by him we cry, “Abba,8:15 Aramaic for father Father.” 16The Spirit himself testifies with our spirit that we are God’s children. 17Now if we are children, then we are heirs—heirs of God and co-heirs with Christ, if indeed we share in his sufferings in order that we may also share in his glory.

Present Suffering and Future Glory

18I consider that our present sufferings are not worth comparing with the glory that will be revealed in us. 19For the creation waits in eager expectation for the children of God to be revealed. 20For the creation was subjected to frustration, not by its own choice, but by the will of the one who subjected it, in hope 21that8:20,21 Or subjected it in hope. 21 For the creation itself will be liberated from its bondage to decay and brought into the freedom and glory of the children of God.

22We know that the whole creation has been groaning as in the pains of childbirth right up to the present time. 23Not only so, but we ourselves, who have the firstfruits of the Spirit, groan inwardly as we wait eagerly for our adoption to sonship, the redemption of our bodies. 24For in this hope we were saved. But hope that is seen is no hope at all. Who hopes for what they already have? 25But if we hope for what we do not yet have, we wait for it patiently.

26In the same way, the Spirit helps us in our weakness. We do not know what we ought to pray for, but the Spirit himself intercedes for us through wordless groans. 27And he who searches our hearts knows the mind of the Spirit, because the Spirit intercedes for God’s people in accordance with the will of God.

28And we know that in all things God works for the good of those who love him, who8:28 Or that all things work together for good to those who love God, who; or that in all things God works together with those who love him to bring about what is good—with those who have been called according to his purpose. 29For those God foreknew he also predestined to be conformed to the image of his Son, that he might be the firstborn among many brothers and sisters. 30And those he predestined, he also called; those he called, he also justified; those he justified, he also glorified.

More Than Conquerors

31What, then, shall we say in response to these things? If God is for us, who can be against us? 32He who did not spare his own Son, but gave him up for us all—how will he not also, along with him, graciously give us all things? 33Who will bring any charge against those whom God has chosen? It is God who justifies. 34Who then is the one who condemns? No one. Christ Jesus who died—more than that, who was raised to life—is at the right hand of God and is also interceding for us. 35Who shall separate us from the love of Christ? Shall trouble or hardship or persecution or famine or nakedness or danger or sword? 36As it is written:

“For your sake we face death all day long;

we are considered as sheep to be slaughtered.”8:36 Psalm 44:22

37No, in all these things we are more than conquerors through him who loved us. 38For I am convinced that neither death nor life, neither angels nor demons,8:38 Or nor heavenly rulers neither the present nor the future, nor any powers, 39neither height nor depth, nor anything else in all creation, will be able to separate us from the love of God that is in Christ Jesus our Lord.

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 8:1-39

Obulamu Obuva mu Mwoyo

18:1 a nny 34 b nny 39; Bar 16:3Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. 28:2 a 1Ko 15:45 b Bar 6:18 c Bar 7:4Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa. 38:3 a Bik 13:39; Beb 7:18 b Baf 2:7 c Beb 2:14, 17Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olw’okunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi ky’omubiri ogw’ekibi, n’asalira ekibi omusango mu mubiri. 48:4 Bag 5:16Ekyo kyabaawo, eby’obutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.

58:5 a Bag 5:19-21 b Bag 5:22-25Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. 68:6 Bag 6:8Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe. 78:7 Yak 4:4Kubanga okulowooza eby’omubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo eby’omubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. 8N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

98:9 a 1Ko 6:19; Bag 4:6 b Yk 14:17; 1Yk 4:13Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo. 108:10 Bag 2:20Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu. 118:11 a Bik 2:24 b Yk 5:21Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.

12Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira. 138:13 Bag 6:8Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa eby’omubiri, muliba balamu, 148:14 a Bag 5:18 b Yk 1:12; Kub 21:7kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. 158:15 a 2Ti 1:7; Beb 2:15 b Mak 14:36Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.” 168:16 Bef 1:13Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. 178:17 a Bik 20:32; Bag 4:7 b 1Pe 4:13Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Ekitiibwa ekijja

188:18 2Ko 4:17Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa n’ekitiibwa ekiritubikulirwa. 19Ebitonde birindirira n’essuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa. 208:20 Lub 3:17-19Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira. 218:21 Bik 3:21; 2Pe 3:13Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.

228:22 Yer 12:4Tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era ne birumwa ng’omukazi alumwa okuzaala bw’abeera. 238:23 a 2Ko 5:5 b 2Ko 5:2, 4 c Bag 5:5Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe. 248:24 1Bs 5:8Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako? 25Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.

268:26 Bef 6:18N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka. 278:27 Kub 2:23Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli. 288:28 1Ko 1:9; 2Ti 1:9Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi. 298:29 a Bar 11:2 b Bef 1:5, 11 c 1Ko 15:49; 2Ko 3:18; Baf 3:21; 1Yk 3:2Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi. 308:30 a Bef 1:5, 11 b 1Ko 6:11 c Bar 9:23Abo be yalonda, n’okubayita yabayita, n’abo be yayita, yabawa obutuukirivu, n’abo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.

318:31 a Bar 4:1 b Zab 118:6Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa? 328:32 Yk 3:16; Bar 4:25; 5:8Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye? 338:33 Is 50:8, 9Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda y’awa obutuukirivu. 348:34 a Bar 5:6-8 b Mak 16:19 c Beb 7:25; 9:24; 1Yk 2:1Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’atwegayiririra. 358:35 1Ko 4:11Ani alitwawukanya n’okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala? 368:36 Zab 44:22; 2Ko 4:11Kyawandiikibwa nti:

“Ku lulwo tutiisibwatiisibwa n’okuttibwa obudde okuziba,

era tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa.”

378:37 a 1Ko 15:57 b Bag 2:20; Kub 1:5Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala. 388:38 Bef 1:21; 1Pe 3:22Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, 398:39 Bar 5:8wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.