New International Version

Psalm 115

Psalm 115

Not to us, Lord, not to us
    but to your name be the glory,
    because of your love and faithfulness.

Why do the nations say,
    “Where is their God?”
Our God is in heaven;
    he does whatever pleases him.
But their idols are silver and gold,
    made by human hands.
They have mouths, but cannot speak,
    eyes, but cannot see.
They have ears, but cannot hear,
    noses, but cannot smell.
They have hands, but cannot feel,
    feet, but cannot walk,
    nor can they utter a sound with their throats.
Those who make them will be like them,
    and so will all who trust in them.

All you Israelites, trust in the Lord
    he is their help and shield.
10 House of Aaron, trust in the Lord
    he is their help and shield.
11 You who fear him, trust in the Lord
    he is their help and shield.

12 The Lord remembers us and will bless us:
    He will bless his people Israel,
    he will bless the house of Aaron,
13 he will bless those who fear the Lord
    small and great alike.

14 May the Lord cause you to flourish,
    both you and your children.
15 May you be blessed by the Lord,
    the Maker of heaven and earth.

16 The highest heavens belong to the Lord,
    but the earth he has given to mankind.
17 It is not the dead who praise the Lord,
    those who go down to the place of silence;
18 it is we who extol the Lord,
    both now and forevermore.

Praise the Lord.[a]

Notas al pie

  1. Psalm 115:18 Hebrew Hallelu Yah

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 115

1Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
    Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.

Lwaki amawanga gabuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”
Katonda waffe ali mu ggulu;
    akola buli ky’ayagala.
Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.

12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
    Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
    ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
    Mukama anaabawanga omukisa.

14 Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
    mmwe n’abaana bammwe.
15 Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
    abawe omukisa.

16 Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
    naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 Abafu tebatendereza Mukama,
    wadde abo abaserengeta emagombe.
18 Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!