Joshua 9 – NIV & LCB

New International Version

Joshua 9:1-27

The Gibeonite Deception

1Now when all the kings west of the Jordan heard about these things—the kings in the hill country, in the western foothills, and along the entire coast of the Mediterranean Sea as far as Lebanon (the kings of the Hittites, Amorites, Canaanites, Perizzites, Hivites and Jebusites)— 2they came together to wage war against Joshua and Israel.

3However, when the people of Gibeon heard what Joshua had done to Jericho and Ai, 4they resorted to a ruse: They went as a delegation whose donkeys were loaded9:4 Most Hebrew manuscripts; some Hebrew manuscripts, Vulgate and Syriac (see also Septuagint) They prepared provisions and loaded their donkeys with worn-out sacks and old wineskins, cracked and mended. 5They put worn and patched sandals on their feet and wore old clothes. All the bread of their food supply was dry and moldy. 6Then they went to Joshua in the camp at Gilgal and said to him and the Israelites, “We have come from a distant country; make a treaty with us.”

7The Israelites said to the Hivites, “But perhaps you live near us, so how can we make a treaty with you?”

8“We are your servants,” they said to Joshua.

But Joshua asked, “Who are you and where do you come from?”

9They answered: “Your servants have come from a very distant country because of the fame of the Lord your God. For we have heard reports of him: all that he did in Egypt, 10and all that he did to the two kings of the Amorites east of the Jordan—Sihon king of Heshbon, and Og king of Bashan, who reigned in Ashtaroth. 11And our elders and all those living in our country said to us, ‘Take provisions for your journey; go and meet them and say to them, “We are your servants; make a treaty with us.” ’ 12This bread of ours was warm when we packed it at home on the day we left to come to you. But now see how dry and moldy it is. 13And these wineskins that we filled were new, but see how cracked they are. And our clothes and sandals are worn out by the very long journey.”

14The Israelites sampled their provisions but did not inquire of the Lord. 15Then Joshua made a treaty of peace with them to let them live, and the leaders of the assembly ratified it by oath.

16Three days after they made the treaty with the Gibeonites, the Israelites heard that they were neighbors, living near them. 17So the Israelites set out and on the third day came to their cities: Gibeon, Kephirah, Beeroth and Kiriath Jearim. 18But the Israelites did not attack them, because the leaders of the assembly had sworn an oath to them by the Lord, the God of Israel.

The whole assembly grumbled against the leaders, 19but all the leaders answered, “We have given them our oath by the Lord, the God of Israel, and we cannot touch them now. 20This is what we will do to them: We will let them live, so that God’s wrath will not fall on us for breaking the oath we swore to them.” 21They continued, “Let them live, but let them be woodcutters and water carriers in the service of the whole assembly.” So the leaders’ promise to them was kept.

22Then Joshua summoned the Gibeonites and said, “Why did you deceive us by saying, ‘We live a long way from you,’ while actually you live near us? 23You are now under a curse: You will never be released from service as woodcutters and water carriers for the house of my God.”

24They answered Joshua, “Your servants were clearly told how the Lord your God had commanded his servant Moses to give you the whole land and to wipe out all its inhabitants from before you. So we feared for our lives because of you, and that is why we did this. 25We are now in your hands. Do to us whatever seems good and right to you.”

26So Joshua saved them from the Israelites, and they did not kill them. 27That day he made the Gibeonites woodcutters and water carriers for the assembly, to provide for the needs of the altar of the Lord at the place the Lord would choose. And that is what they are to this day.

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 9:1-27

Ab’e Gibyoni Basala Olukwe

19:1 a Kbl 34:6 b Kuv 3:17; Yos 3:10Bakabaka baamawanga gonna agaali emitala w’omugga Yoludaani ku nsozi ne mu bikko ne ku lubalama lw’ennyanja ennene okwolekera Lebanooni; omwo nga mwe muli Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi bonna bwe baawulira ebibaddewo 2ne beekobaana okulwana ne Yoswa n’Abayisirayiri.

39:3 nny 17; Yos 10:2; 2Sa 2:12; 2By 1:3; Is 28:21Naye abatuuze b’omu Gibyoni9:3 Gibyoni Kyali nga kilomita kkumi okuva e Yerusaalemi. bwe baawulira Yoswa ky’akoze Yeriko ne Ayi 4ne basala amagezi ne bateekateeka emmere n’ebyokunywa ne babissa mu bisawosawo ebikadde ebitungiriretungirire ne babiteeka ku ndogoyi zaabwe, ne bambala ebigoye ebiyulifuyulifu 5n’engatto entungirire, emmere yaabwe yonna yali nkalu ate nga yakukula. 69:6 Yos 5:10Ne bagenda eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba wamu n’Abayisirayiri nti, “Ffe tuva mu nsi yeewala, twagala tukole nammwe endagaano.”

79:7 a nny 1; Yos 11:19 b Kuv 23:32; Ma 7:2Naye Abayisirayiri ne bagamba Abakiivi9:7 Abakiivi Baava mu nsi y’e Mesopotamiya. Mu 2 Samwiri bayitibwa Abamoli. nti, “Mmwe abatabeera mu ffe tukola tutya nammwe endagaano?”

89:8 Ma 20:11; 2Bk 10:5Ne baddamu nti, “Ffe tuli baddu bo.” Yoswa n’abagamba nti, “Mmwe baani era muva wa?”

99:9 a Ma 20:15 b nny 24; Yos 2:9Ne baddamu nti, “Tuzze lwa Mukama Katonda wammwe; twawulira byonna bye yakola e Misiri, 109:10 a Kbl 21:33 b Kbl 21:24, 35era n’ebyo bye yakola bakabaka ababiri Abamoli abaabeeranga emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka w’e Kesuboni ne Ogi kabaka we Basani abaabeeranga mu Asitaloosi. 11Abakulembeze n’abantu b’ewaffe bonna beebaatugamba nti, ‘Mwesibire entanda mugende musisinkane Abayisirayiri mubagambe nti, “Ffe tuli baddu bammwe kale tukole nammwe endagaano.” ’ 12Kale laba emmere yaffe eno we twaviira eka ng’ekyayokya naye olw’olugendo oluwanvu kaakano yiino yonna nkalu era ekukudde n’okukula. 13Ensawo z’omwenge zino ez’amaliba zaali mpya era nga zijjudde omwenge, naye kaakano laba n’okwabika zaabise; ebyambalo n’engatto zaffe byonna byabise olw’olugendo oluwanvu lwe tutambudde.”

149:14 Kbl 27:21Abayisirayiri, awatali kumala kubuuza eri Mukama, ne bakkiriza okulya ku mmere y’abatambuze bano. 159:15 Kuv 23:32; Yos 11:19; 2Sa 21:2Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bakola nabo endagaano y’emirembe era ne beerayirira obutabakolako kabi konna.

Ab’e Gibyoni Babonerezebwa

16Nga wayiseewo ennaku ssatu ng’endagaano ewedde okukola, Abayisirayiri ne bakivumbula ng’abantu abo baliraanwa baabwe. 179:17 a Yos 18:25 b 1Sa 7:1-2Abayisirayiri ne bagenda okunoonyereza, ku lunaku olwokusatu ne batuuka mu bibuga by’abantu bano: Gibyoni, ne Kefira, ne Beroosi ne Kiriyasuyalimu. 189:18 a Zab 15:4 b Kuv 15:24Naye Abayisirayiri tebatta bantu bano kubanga abakulembeze baabwe baali baamala dda okwerayirira mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri obutabatta. Abayisirayiri bonna ne beemulugunyiza abakulembeze baabwe. 19Naye bo abakulembeze ne bakakata nti, “Twamala dda okwerayirira mu maaso ga Mukama Katonda wa Isirayiri, tetuyinza kubatta. 20Tetuteekwa kubatta kubanga twalayira obutakikola, singa tukikola obusungu bwa Mukama bujja kutubuubuukirako.” 219:21 a nny 15 b Ma 29:11Abakulembeze b’Abayisirayiri ne bagamba nti, “Temubatta.” Bwe batyo ne bafuuka baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi g’Abayisirayiri ng’abakulembeze bwe babalagira.

229:22 a nny 6 b nny 16Yoswa n’ayita abantu abo n’ababuuza nti, “Naye lwaki mwatulimba nti muli b’ewala, so nga ate muli baliraanwa baffe? 239:23 Lub 9:25Kale nno kaakano mukolimiddwa, munaabeeranga baddu, baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi mu nnyumba ya Katonda wange.”

249:24 nny 9Yoswa ne bamuddamu nti, “Abaddu bo kino twakikola lwa kubanga twawulira nti, Mukama Katonda wo yalagira omuddu we Musa okubawa ensi eno era n’okuzikiriza bonna abagibeeramu, bwe tutyo ne tutya nnyo ne twagala okuwonya obulamu bwaffe kye kyatukozeseza ekintu kino. 259:25 Lub 16:6Naye tuutuno kaakano tuli mu mukono gwo gw’omanyi eky’okutukolera.”

26Bw’atyo Yoswa n’awonya abantu bano mu mukono gw’Abayisirayiri, ne batabatta. 279:27 Ma 12:5Naye okuva olwo n’abafuula baakwasanga nku n’okukimiranga Abayisirayiri amazzi, era n’okuweerezanga ku kyoto kya Mukama mu kifo Mukama ky’anaalondanga okukiteekamu. Era bwe batyo bwe bakola ne leero.