Jeremiah 26 – NIV & LCB

New International Version

Jeremiah 26:1-24

Jeremiah Threatened With Death

1Early in the reign of Jehoiakim son of Josiah king of Judah, this word came from the Lord: 2“This is what the Lord says: Stand in the courtyard of the Lord’s house and speak to all the people of the towns of Judah who come to worship in the house of the Lord. Tell them everything I command you; do not omit a word. 3Perhaps they will listen and each will turn from their evil ways. Then I will relent and not inflict on them the disaster I was planning because of the evil they have done. 4Say to them, ‘This is what the Lord says: If you do not listen to me and follow my law, which I have set before you, 5and if you do not listen to the words of my servants the prophets, whom I have sent to you again and again (though you have not listened), 6then I will make this house like Shiloh and this city a curse26:6 That is, its name will be used in cursing (see 29:22); or, others will see that it is cursed. among all the nations of the earth.’ ”

7The priests, the prophets and all the people heard Jeremiah speak these words in the house of the Lord. 8But as soon as Jeremiah finished telling all the people everything the Lord had commanded him to say, the priests, the prophets and all the people seized him and said, “You must die! 9Why do you prophesy in the Lord’s name that this house will be like Shiloh and this city will be desolate and deserted?” And all the people crowded around Jeremiah in the house of the Lord.

10When the officials of Judah heard about these things, they went up from the royal palace to the house of the Lord and took their places at the entrance of the New Gate of the Lord’s house. 11Then the priests and the prophets said to the officials and all the people, “This man should be sentenced to death because he has prophesied against this city. You have heard it with your own ears!”

12Then Jeremiah said to all the officials and all the people: “The Lord sent me to prophesy against this house and this city all the things you have heard. 13Now reform your ways and your actions and obey the Lord your God. Then the Lord will relent and not bring the disaster he has pronounced against you. 14As for me, I am in your hands; do with me whatever you think is good and right. 15Be assured, however, that if you put me to death, you will bring the guilt of innocent blood on yourselves and on this city and on those who live in it, for in truth the Lord has sent me to you to speak all these words in your hearing.”

16Then the officials and all the people said to the priests and the prophets, “This man should not be sentenced to death! He has spoken to us in the name of the Lord our God.”

17Some of the elders of the land stepped forward and said to the entire assembly of people, 18“Micah of Moresheth prophesied in the days of Hezekiah king of Judah. He told all the people of Judah, ‘This is what the Lord Almighty says:

“ ‘Zion will be plowed like a field,

Jerusalem will become a heap of rubble,

the temple hill a mound overgrown with thickets.’26:18 Micah 3:12

19“Did Hezekiah king of Judah or anyone else in Judah put him to death? Did not Hezekiah fear the Lord and seek his favor? And did not the Lord relent, so that he did not bring the disaster he pronounced against them? We are about to bring a terrible disaster on ourselves!”

20(Now Uriah son of Shemaiah from Kiriath Jearim was another man who prophesied in the name of the Lord; he prophesied the same things against this city and this land as Jeremiah did. 21When King Jehoiakim and all his officers and officials heard his words, the king was determined to put him to death. But Uriah heard of it and fled in fear to Egypt. 22King Jehoiakim, however, sent Elnathan son of Akbor to Egypt, along with some other men. 23They brought Uriah out of Egypt and took him to King Jehoiakim, who had him struck down with a sword and his body thrown into the burial place of the common people.)

24Furthermore, Ahikam son of Shaphan supported Jeremiah, and so he was not handed over to the people to be put to death.

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 26:1-24

Yeremiya Atiisibwatiisibwa okuttibwa

126:1 2Bk 23:36Awo Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga yakalya obwakabaka, ekigambo kino kyajja okuva eri Mukama. 226:2 a Yer 19:14 b Yer 1:17; Mat 28:20; Bik 20:27 c Ma 4:2“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya lw’ennyumba ya Mukama oyogere eri abantu bonna ab’ebibuga bya Yuda abazze okusinza mu nnyumba ya Mukama. Bagambe byonna bye nkulagira; tobaako na ky’olekayo. 326:3 a Yer 36:7 b Yer 18:8Oboolyawo banaawulira, buli muntu n’akyuka okuva mu makubo ge amabi. Olwo nnejjuse nneme kubaleetako kikangabwa kyembadde ntegeka olw’okwonoona kwabwe. 426:4 a Lv 26:14 b 1Bk 9:6Bagambe, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mutampulirize ne mugoberera amateeka gange ge mbawadde, 526:5 Yer 25:4era bwe mutaawulirize bigambo bya baddu bange bannabbi, be mbatumidde emirundi emingi wadde nga temubafuddeeko, 626:6 a Yos 18:1 b 2Bk 22:19ndifuula enju eno nga Siiro era n’ekibuga kino ng’ekintu eky’okukolimirwa mu mawanga ag’ensi.’ ”

7Bakabona ne bannabbi n’abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng’ayogera ebigambo bino mu nnyumba ya Mukama. 8Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa! 926:9 Yer 9:11Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya Mukama nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, n’ekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.

10Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebigambo bino, ne bava mu lubiri ne bambuka mu nnyumba ya Mukama ne batuula mu bifo byabwe awayingirirwa ku Mulyango Omuggya ogw’ennyumba ya Mukama. 1126:11 Ma 18:20; Yer 18:23; 38:4; Mat 26:66; Bik 6:11Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.”

1226:12 a Yer 1:18 b Am 7:15; Bik 4:18-20; 5:29 c nny 2, 15Awo Yeremiya n’agamba abakungu bonna n’abantu bonna nti, “Mukama yantuma njogere ebyobunnabbi bwe bityo ku nnyumba eno n’ekibuga kino ebintu byonna bye muwulidde. 1326:13 Yer 7:5; Yo 2:12-14Kaakano mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa n’ataleeta bikangabwa by’aboogeddeko. 1426:14 Yer 38:5Nze, ndi mu mikono gyammwe; munkole kyonna kye mulowooza nga kye kirungi era kye kituufu. 15Mumanyire ddala nno nti bwe munzita, mujja kwereetako omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutalina musango, mmwe n’ekibuga kino n’abo abakibeeramu, kubanga eky’amazima Mukama ye yantumye okwogera gye muli ebigambo bino byonna mubiwulire.”

1626:16 a Bik 23:9 b Bik 5:34-39; 23:29Awo abakungu n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaana kusalirwa musango gwa kufa! Ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”

17Abamu ku bakadde ne bavaayo ne bajja mu maaso ne boogera eri ekibiina kyonna eky’abantu nti, 1826:18 a Mi 1:1 b Is 2:3 c Nek 4:2; Yer 9:11 d Mi 4:1; Zek 8:3 e Yer 17:3“Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,

Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,

olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’ 

1926:19 a 2By 32:24-26; Is 37:14-20 b Kuv 32:14; 2Sa 24:16 c Yer 44:7 d Kbk 2:10Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama n’anoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!”

2026:20 Yos 9:17Waaliwo omusajja omulala Uliya omwana wa Semaaya ow’e Kiriyasuyalimu, eyawa obunnabbi mu linnya lya Mukama. Yawa obunnabbi bwe bumu ng’obwa Yeremiya obugugumbula ekibuga kino era n’ensi eno. 2126:21 a 1Bk 19:2 b Mat 10:23Wabula kabaka Yekoyakimu n’abakungu be bonna n’abasajja be n’ab’obuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n’amunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira n’atya n’addukira e Misiri. 2226:22 Yer 36:12, 25Awo kabaka Yekoyakimu n’atuma Erunasani mutabani wa Akubooli n’abasajja abawerako, 23ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri kabaka Yekoyakimu, eyalagira attibwe n’ekitala omulambo gwe ne gusuulibwa mu kifo ekiziikibwamu ekya lukale.

2426:24 2Bk 22:12Akikamu mutabani wa Safani n’awolereza Yeremiya n’amuwagira n’ataweebwayo eri bantu kuttibwa.