Isaiah 8 – NIV & LCB

New International Version

Isaiah 8:1-22

Isaiah and His Children as Signs

1The Lord said to me, “Take a large scroll and write on it with an ordinary pen: Maher-Shalal-Hash-Baz.”8:1 Maher-Shalal-Hash-Baz means quick to the plunder, swift to the spoil; also in verse 3. 2So I called in Uriah the priest and Zechariah son of Jeberekiah as reliable witnesses for me. 3Then I made love to the prophetess, and she conceived and gave birth to a son. And the Lord said to me, “Name him Maher-Shalal-Hash-Baz. 4For before the boy knows how to say ‘My father’ or ‘My mother,’ the wealth of Damascus and the plunder of Samaria will be carried off by the king of Assyria.”

5The Lord spoke to me again:

6“Because this people has rejected

the gently flowing waters of Shiloah

and rejoices over Rezin

and the son of Remaliah,

7therefore the Lord is about to bring against them

the mighty floodwaters of the Euphrates—

the king of Assyria with all his pomp.

It will overflow all its channels,

run over all its banks

8and sweep on into Judah, swirling over it,

passing through it and reaching up to the neck.

Its outspread wings will cover the breadth of your land,

Immanuel8:8 Immanuel means God with us.!”

9Raise the war cry,8:9 Or Do your worst you nations, and be shattered!

Listen, all you distant lands.

Prepare for battle, and be shattered!

Prepare for battle, and be shattered!

10Devise your strategy, but it will be thwarted;

propose your plan, but it will not stand,

for God is with us.8:10 Hebrew Immanuel

11This is what the Lord says to me with his strong hand upon me, warning me not to follow the way of this people:

12“Do not call conspiracy

everything this people calls a conspiracy;

do not fear what they fear,

and do not dread it.

13The Lord Almighty is the one you are to regard as holy,

he is the one you are to fear,

he is the one you are to dread.

14He will be a holy place;

for both Israel and Judah he will be

a stone that causes people to stumble

and a rock that makes them fall.

And for the people of Jerusalem he will be

a trap and a snare.

15Many of them will stumble;

they will fall and be broken,

they will be snared and captured.”

16Bind up this testimony of warning

and seal up God’s instruction among my disciples.

17I will wait for the Lord,

who is hiding his face from the descendants of Jacob.

I will put my trust in him.

18Here am I, and the children the Lord has given me. We are signs and symbols in Israel from the Lord Almighty, who dwells on Mount Zion.

The Darkness Turns to Light

19When someone tells you to consult mediums and spiritists, who whisper and mutter, should not a people inquire of their God? Why consult the dead on behalf of the living? 20Consult God’s instruction and the testimony of warning. If anyone does not speak according to this word, they have no light of dawn. 21Distressed and hungry, they will roam through the land; when they are famished, they will become enraged and, looking upward, will curse their king and their God. 22Then they will look toward the earth and see only distress and darkness and fearful gloom, and they will be thrust into utter darkness.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 8:1-22

Mukama Akozesa Bwasuli Okubonereza Isirayiri

18:1 a Is 30:8; Kbk 2:2 b nny 3; Kbk 2:2Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.” 28:2 2Bk 16:10Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.

3Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi. 48:4 a Is 7:16 b Is 7:8Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”

5Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,

68:6 a Is 5:24 b Yk 9:7 c Is 7:1“Kubanga abantu bano bagaanye

amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola,8:6 Amazzi agoogerebwako wano ge mazzi agava mu Gikoni (2By 32:4-30) agakozesebwa wakati mu kibuga Yerusaalemi

ne bajaguza olwa Lezini

ne mutabani wa Lemaliya,

78:7 a Is 17:12-13 b Is 7:20kale nno Mukama anaatera okubaleetako

amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,

ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;

galisukka ensalosalo zonna,

ne ganjaala ku ttale lyonna.

88:8 Is 7:14Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,

galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,

n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,

ggwe Emmanweri.”

98:9 a Is 17:12-13 b Yo 3:9Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire.

Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala;

mwenyweze naye mwekaabire;

mwenyweze naye mwekaabire.

108:10 a Yob 5:12 b Is 7:7 c Is 7:14; Bar 8:31Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka,

mwogere ekigambo naye tekirituukirira.

118:11 a Ez 3:14 b Ez 2:8Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,

128:12 a Is 7:2; 30:1 b 1Pe 3:14*“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe,

temubiyita nkwe,

era temutya bye batya,

wadde okutekemuka8:12 Abantu bwe baawulira nti waliwo omukago wakati wa Isirayiri ne Bwasuli, ne batya nnyo. omutima.

138:13 a Kbl 20:12 b Is 29:23Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,

nze gwe muba mutya,

era gwe muba mwekengera.

148:14 a Is 4:6; Ez 11:16 b Luk 2:34; Bar 9:33*; 1Pe 2:8* c Is 24:17-18Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri

aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,

era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.

158:15 Is 28:13; 59:10; Luk 20:18; Bar 9:32Era bangi abaliryesittalako,

bagwe, bamenyeke,

bategebwe bakwatibwe.”

168:16 Is 29:11-12Nyweza obujulirwa

okakase amateeka mu bayigirizwa bange.

178:17 a Kbk 2:3 b Ma 31:17; Is 54:8Nange nnaalindirira Mukama Katonda

akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,

mmunoonye n’essuubi.

188:18 a Beb 2:13* b Luk 2:34 c Zab 9:11Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.

198:19 a 1Sa 28:8 b Is 29:4Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? 208:20 a Is 1:10; Luk 16:29 b Mi 3:6Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 218:21 Kub 16:11Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe. 228:22 nny 20; Is 5:30Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.