New International Reader's Version

Psalm 74

Psalm 74

A maskil of Asaph.

God, why have you turned your back on us for so long?
    Why are you so angry with us? We are your very own sheep.
Remember the nation that you chose as your own so long ago.
    Remember that you set us free from slavery to be your very own people.
    Remember Mount Zion, where you lived.
Walk through this place that has been torn down beyond repair.
    See how completely your enemies have destroyed the temple!

In the place where you used to meet with us,
    your enemies have shouted, “We’ve won the battle!”
    They have set up their flags to show they have beaten us.
They acted like people cutting down a forest with axes.
    They smashed all the beautiful wooden walls
    with their axes and hatchets.
They burned your temple to the ground.
    They polluted the place where your Name is.
They had said in their hearts, “We will crush them completely!”
    They burned every place where you were worshiped in the land.
We don’t get signs from God anymore.
    There aren’t any prophets left.
    None of us knows how long that will last.

10 God, how long will your enemies make fun of you?
    Will they attack you with their words forever?
11 Why don’t you help us? Why do you hold back your power?
    Use your strong power to destroy your enemies!

12 God, you have been my king for a long time.
    You are the only God who can save anyone on earth.
13 You parted the waters of the Red Sea by your power.
    You broke the heads of that sea monster in Egypt.
14 You crushed the heads of the sea monster Leviathan.
    You fed it to the creatures of the desert.
15 You opened up streams and springs.
    You dried up rivers that flow all year long.
16 You rule over the day and the night.
    You created the sun and the moon.
17 You decided where the borders of the earth would be.
    You made both summer and winter.

18 Lord, remember how your enemies have made fun of you.
    Remember how foolish people have attacked you with their words.
19 Don’t hand over Israel, your dove, to those wild animals.
    Don’t forget your suffering people forever.
20 Honor the covenant you made with us.
    Horrible things are happening in every dark corner of the land.
21 Don’t let your suffering people be put to shame.
    May those who are poor and needy praise you.

22 God, rise up. Stand up for your cause.
    Remember how foolish people make fun of you all day long.
23 Pay close attention to the shouts of your enemies.
    The trouble they cause never stops.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 74

Zabbuli ya Asafu.

1Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.