Jonah 1 – NIRV & LCB

New International Reader’s Version

Jonah 1:1-17

Jonah Runs Away From the Lord

1A message from the Lord came to Jonah, the son of Amittai. The Lord said, 2“Go to the great city of Nineveh. Preach against it. The sins of its people have come to my attention.”

3But Jonah ran away from the Lord. He headed for Tarshish. So he went down to the port of Joppa. There he found a ship that was going to Tarshish. He paid the fare and went on board. Then he sailed for Tarshish. He was running away from the Lord.

4But the Lord sent a strong wind over the Mediterranean Sea. A wild storm came up. It was so wild that the ship was in danger of breaking apart. 5All the sailors were afraid. Each one cried out to his own god for help. They threw the ship’s contents into the sea. They were trying to make the ship lighter.

But Jonah had gone below deck. There he lay down and fell into a deep sleep. 6The captain went down to him and said, “How can you sleep? Get up and call out to your god for help! Maybe he’ll pay attention to what’s happening to us. Then we won’t die.”

7Here is what the sailors said to one another. “Someone is to blame for getting us into all this trouble. Come. Let’s cast lots to find out who it is.” So they did. And Jonah was picked. 8They asked him, “What terrible thing have you done to bring all this trouble on us? Tell us. What do you do for a living? Where do you come from? What is your country? What people do you belong to?”

9He answered, “I’m a Hebrew. I worship the Lord. He is the God of heaven. He made the sea and the dry land.”

10They found out he was running away from the Lord. That’s because he had told them. Then they became terrified. So they asked him, “How could you do a thing like that?”

11The sea was getting rougher and rougher. So they asked him, “What should we do to you to make the sea calm down?”

12“Pick me up and throw me into the sea,” he replied. “Then it will become calm. I know it’s my fault that this terrible storm has come on you.”

13But the men didn’t do what he said. Instead, they did their best to row back to land. But they couldn’t. The sea got even rougher than before. 14Then they cried out to the Lord. They prayed, “Please, Lord, don’t let us die for taking this man’s life. After all, he might not be guilty of doing anything wrong. So don’t hold us responsible for killing him. Lord, you always do what you want to.” 15Then they took Jonah and threw him overboard. And the stormy sea became calm. 16The men saw what had happened. Then they began to have great respect for the Lord. They offered a sacrifice to him. And they made promises to him.

Jonah Prays to the Lord

17Now the Lord sent a huge fish to swallow Jonah. And Jonah was in the belly of the fish for three days and three nights.

Luganda Contemporary Bible

Yona 1:1-17

Yona Ajeemera Katonda

11:1 a Mat 12:39-41 b 2Bk 14:25Awo Mukama n’ayogera ne Yona omwana wa Amittayi ng’agamba 21:2 Lub 10:11nti, “Situka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.”

31:3 a Zab 139:7 b Yos 19:46; Bik 9:36, 43Naye Yona n’adduka okuva mu maaso ga Mukama, n’aserengeta okulaga e Talusiisi. N’aserengeta e Yopa gye yasanga ekyombo, n’akirinnya okugenda e Talusiisi. Ng’amaze okusasulira etikiti ye, n’asaabala mu kyombo ekiraga e Talusiisi ng’adduka okuva mu maaso ga Mukama.

41:4 Zab 107:23-26Awo Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’ekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo. 51:5 Bik 27:18-19Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo.

Mu kiseera ekyo, Yona yali mu tulo wansi mu ntobo y’ekyombo. 61:6 a Yon 3:8 b Zab 107:28Naye omugoba omukulu ow’ekyombo n’aserengeta gye yali n’amugamba nti, “Oyinza otya okuba nga weebase? Situka okaabirire katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa n’atulokola.”

71:7 Yos 7:10-18; 1Sa 14:42Awo abalunnyanja ne boogeraganya nti, “Mujje tukube obululu, tuvumbule omuntu yennyini avuddeko omutawaana guno.” Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.

8Abalunnyanja ne babuuza Yona nti, “Tubuulire, lwaki otuleetedde akabi akafaanana bwe kati, kiki ky’okoze? Okola mulimu ki? Ova wa era oli wa nsi ki, n’abantu bo be b’ani?”

91:9 a Bik 17:24 b Zab 146:6Yona n’agamba nti, “Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda w’eggulu eyakola eggulu n’ensi.”

10Awo ne batya nnyo ne babuuza nti, “Kiki kino ky’otukoze?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka mu maaso ga Katonda nga bwe yali amaze okubategeeza.

11Awo ne bamugamba nti, “Tukukole tutya ennyanja erongooke?” Kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi okufuukuuka.

121:12 2Sa 24:17; 1By 21:17N’abagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja ennyanja eneeteeka, kubanga esiikuuse ku lwange.”

131:13 Nge 21:30Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale, kyokka ne batayinza, kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi. 141:14 a Ma 21:8 b Zab 115:3Kyebaava bakaabirira Mukama ng’abagamba nti, “Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olw’obulamu bw’omusajja ono, era totuteekako musango olw’omusaayi gwe n’okufa kwe, kubanga oleese omuyaga olw’esonga.” 151:15 Zab 107:29; Luk 8:24Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja eyali eyira. Amangwago omuyaga ne gusirika. 161:16 Mak 4:41Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gy’ali ne beeyama obweyamo.

171:17 Mat 12:40; 16:4; Luk 11:30Mukama yateekateeka ekyennyanja ekinene ennyo ne kimira Yona; Yona n’amala mu kyennyanja ekyo ennaku ssatu emisana n’ekiro.