1 Samuel 12 – NIRV & LCB

New International Reader’s Version

1 Samuel 12:1-25

Samuel’s Final Speech to Israel

1Samuel spoke to all the Israelites. He said, “I’ve done everything you asked me to do. I’ve placed a king over you. 2Now you have a king as your leader. But I’m old. My hair is gray. My sons are here with you. I’ve been your leader from the time I was young until this day. 3Here I stand. Bring charges against me if you can. The Lord is a witness. And so is his anointed king. Whose ox have I taken? Whose donkey have I taken? Have I cheated anyone? Have I treated anyone badly? Have I accepted money from anyone who wanted special favors? If I’ve done any of these things, I’ll make it right.”

4“You haven’t cheated us,” they replied. “You haven’t treated us badly. You haven’t taken anything from anyone.”

5Samuel said to them, “The Lord is a witness against you this day. And so is his anointed king. They are witnesses that I haven’t taken anything from any of you.”

“The Lord is a witness,” they said.

6Then Samuel said to the people, “The Lord appointed Moses and Aaron. He brought out of Egypt your people who lived long ago. 7Now then, stand here. I’m going to remind you of all the good things the Lord has done for you and your people. He is a witness.

8“After Jacob’s family entered Egypt, they cried out to the Lord for help. The Lord sent Moses and Aaron. They brought your people out of Egypt. They had them make their homes in this land.

9“But the people forgot the Lord their God. So he put them under the control of Sisera. Sisera was the commander of the army of Hazor. The Lord also put the Israelites under the control of the Philistines and the king of Moab. All those nations fought against Israel. 10So the people cried out to the Lord. They said, ‘We have sinned. We’ve deserted the Lord. We’ve served gods that are named Baal. We’ve served female gods that are named Ashtoreth. But save us now from the power of our enemies. Then we will serve you.’ 11The Lord sent Gideon, Barak, Jephthah and me. He saved you from the power of your enemies who were all around you. So you lived in safety.

12“But then you saw that Nahash, the king of Ammon, was about to attack you. So you said to me, ‘No! We want a king to rule over us.’ You said it even though the Lord your God was your king. 13Now here is the king you have chosen. He’s the one you asked for. The Lord has placed a king over you. 14But you must have respect for the Lord. You must serve him and obey him. You must not say no to his commands. Both you and the king who rules over you must obey the Lord your God. If you do, that’s good. 15But you must not disobey him. You must not say no to his commands. If you do, his power will be against you. That’s what happened to your people who lived before you.

16“So stand still. Watch the great thing the Lord is about to do right here in front of you! 17It’s time to gather in the wheat, isn’t it? I’ll call out to the Lord to send thunder and rain. Then you will realize what an evil thing you did in the sight of the Lord. You shouldn’t have asked for a king.”

18Samuel called out to the Lord. That same day the Lord sent thunder and rain. So all the people had great respect for the Lord and for Samuel.

19They said to Samuel, “Pray to the Lord your God for us. Pray that we won’t die because we asked for a king. That was an evil thing to do. We added it to all our other sins.”

20“Don’t be afraid,” Samuel replied. “It’s true that you have done all these evil things. But don’t turn away from the Lord. Serve him with all your heart. 21Don’t turn away and worship statues of gods. They are useless. They can’t do you any good. They can’t save you either. They are completely useless. 22But the Lord will be true to his great name. He won’t turn his back on his people. That’s because he was pleased to make you his own people. 23I would never sin against the Lord by failing to pray for you. I’ll teach you to live in a way that is good and right. 24But be sure to have respect for the Lord. Serve him faithfully. Do it with all your heart. Think about the great things he has done for you. 25But don’t be stubborn. Don’t continue to do what is evil. If you do, both you and your king will be destroyed.”

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 12:1-25

Ebigambo bya Samwiri ng’Asiibula

112:1 a 1Sa 8:7 b 1Sa 10:24; 11:15Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga. 212:2 1Sa 8:5Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero. 312:3 a 1Sa 10:1; 24:6 b Kbl 16:15 c Ma 16:19 d Bik 20:33Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”

4Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”

512:5 a Bik 23:9; 24:20 b Kuv 22:4Awo Samwiri n’abaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”

612:6 Kuv 6:26; Mi 6:4Samwiri n’agamba abantu nti, “Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri. 712:7 Is 1:18Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga Mukama, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.

812:8 a Kuv 2:23 b Kuv 3:10; 4:16“Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino.

912:9 a Bal 3:7 b Bal 4:2 c Bal 10:7; 13:1 d Bal 3:12“Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga. 1012:10 a Bal 10:10, 15 b Bal 2:13Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’ 1112:11 a Bal 6:14, 32 b Bal 4:6 c Bal 11:1Mukama n’alyoka atuma Yerubbaali12:11 Yerubbaali ye Gidyoni, ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe. 1212:12 a 1Sa 11:1 b 1Sa 8:5 c Bal 8:23Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ 1312:13 a 1Sa 8:5 b 1Sa 10:24Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga. 1412:14 Yos 24:14Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. 1512:15 nny 9; Yos 24:20; Is 1:20Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.

1612:16 Kuv 14:13“Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu Mukama kyagenda okukola mu maaso gammwe. 1712:17 a 1Sa 7:9-10 b Yak 5:18 c Nge 26:1 d 1Sa 8:6-7Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba Mukama, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga Mukama.”

1812:18 Kuv 14:31Awo Samwiri n’asaba Mukama, Mukama n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri. 1912:19 nny 23; Kuv 9:28; Yak 5:18; 1Yk 5:16Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.”

20Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. 2112:21 a Is 41:24, 29; Yer 16:19; Kbk 2:18 b Ma 11:16Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa. 2212:22 a Zab 106:8 b Yos 7:9 c 1Bk 6:13 d Ma 7:7; 1Pe 2:9Mukama tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga Mukama yasiima okubafuula ababe. 2312:23 a Bar 1:9-10; Bak 1:9; 2Ti 1:3 b 1Bk 8:36; Zab 34:11; Nge 4:11Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu. 2412:24 a Mub 12:13 b Is 5:12 c Ma 10:21Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera. 2512:25 a 1Sa 31:1-5 b Yos 24:20Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”