Mateo 5 – NVI & LCB

Nueva Versión Internacional

Mateo 5:1-48

Las bienaventuranzas

5:3-12Lc 6:20-23

1Cuando vio a las multitudes, subió a la ladera de una montaña y se sentó. Sus discípulos se le acercaron, 2tomó él la palabra y comenzó a enseñarles diciendo:

3«Dichosos los pobres en espíritu,

porque el reino de los cielos les pertenece.

4Dichosos los que sufren,

porque serán consolados.

5Dichosos los humildes,

porque recibirán la tierra como herencia.

6Dichosos los que tienen hambre y sed de justicia,

porque serán saciados.

7Dichosos los compasivos,

porque serán tratados con compasión.

8Dichosos los de corazón limpio,

porque ellos verán a Dios.

9Dichosos los que trabajan por la paz,

porque serán llamados hijos de Dios.

10Dichosos los perseguidos por causa de la justicia,

porque el reino de los cielos les pertenece.

11»Dichosos serán ustedes cuando por mi causa la gente los insulte, los persiga y levante contra ustedes toda clase de calumnias. 12Alégrense y llénense de júbilo, porque les espera una gran recompensa en el cielo. Así también persiguieron a los profetas que los precedieron a ustedes.

La sal y la luz

13»Ustedes son la sal de la tierra. Pero si la sal pierde su sabor, ¿cómo lo recobrará? Ya no sirve para nada, sino para que la gente la deseche y la pisotee.

14»Ustedes son la luz del mundo. Una ciudad en lo alto de una montaña no puede esconderse. 15Tampoco se enciende una lámpara para cubrirla con una vasija. Por el contrario, se pone en el candelero para que alumbre a todos los que están en la casa. 16Hagan brillar su luz delante de todos, para que ellos puedan ver las buenas obras de ustedes y alaben a su Padre que está en los cielos.

El cumplimiento de la Ley

17»No piensen que he venido a anular la Ley o los Profetas; no he venido a anularlos, sino a darles cumplimiento. 18Les aseguro que mientras existan el cielo y la tierra, ni una letra ni una tilde de la Ley desaparecerán hasta que todo se haya cumplido. 19Todo el que infrinja uno solo de estos mandamientos, por pequeño que sea, y enseñe a otros a hacer lo mismo, será considerado el más pequeño en el reino de los cielos; pero el que los practique y enseñe será considerado grande en el reino de los cielos. 20Porque les digo a ustedes que no van a entrar en el reino de los cielos a menos que su justicia supere la de los fariseos y la de los maestros de la Ley.

El homicidio

5:25-26Lc 12:58-59

21»Ustedes han oído que se dijo a sus antepasados: “No mates”.5:21 Éx 20:13. También se les dijo que todo el que mate quedará sujeto al juicio del tribunal. 22Pero yo digo que todo el que se enoje5:22 se enoje. Var. se enoje sin causa. con su hermano quedará sujeto al juicio del tribunal. Es más, cualquiera que insulte5:22 insulte. Lit. le diga: “Raca” (estúpido en arameo). a su hermano quedará sujeto al juicio del Consejo. Y cualquiera que le diga: “Insensato”, quedará sujeto al fuego del infierno.

23»Por lo tanto, si estás presentando tu ofrenda en el altar y allí recuerdas que tu hermano tiene algo contra ti, 24deja tu ofrenda allí delante del altar. Ve primero y reconcíliate con tu hermano; luego vuelve y presenta tu ofrenda.

25»Si tu adversario te va a denunciar, llega a un acuerdo con él lo más pronto posible. Hazlo mientras vayan de camino al juzgado, no sea que te entregue al juez, el juez al guardia y te echen en la cárcel. 26Te aseguro que no saldrás de allí hasta que pagues el último centavo.5:26 centavo. Lit. cuadrante.

El adulterio

27»Ustedes han oído que se dijo: “No cometas adulterio”.5:27 Éx 20:14. 28Pero yo digo que cualquiera que mira a una mujer y la codicia ya ha cometido adulterio con ella en el corazón. 29Por tanto, si tu ojo derecho te hace pecar, sácatelo y tíralo. Más te vale perder una sola parte de tu cuerpo y no que todo él sea arrojado al infierno. 30Y si tu mano derecha te hace pecar, córtatela y arrójala. Más te vale perder una sola parte de tu cuerpo y no que todo él vaya al infierno.

El divorcio

31»Se ha dicho: “El que se divorcia de su esposa debe darle un certificado de divorcio”.5:31 Dt 24:1. 32Pero yo digo que, excepto en caso de inmoralidad sexual, todo el que se divorcia de su esposa la induce a cometer adulterio y el que se casa con la divorciada comete adulterio.

Los juramentos

33»También han oído que se dijo a sus antepasados: “No faltes a tu juramento, sino cumple con tus promesas al Señor”. 34Pero yo digo: No juren de ningún modo: ni por el cielo, porque es el trono de Dios; 35ni por la tierra, porque es el estrado de sus pies; ni por Jerusalén, porque es la ciudad del gran Rey. 36Tampoco jures por tu cabeza, porque no puedes hacer que ni uno solo de tus cabellos se vuelva blanco o negro. 37Cuando ustedes digan “sí”, que sea realmente sí; y cuando digan “no”, que sea no. Cualquier otra cosa que digan más allá de esto proviene del maligno.

Ojo por ojo

38»Ustedes han oído que se dijo: “Ojo por ojo y diente por diente”.5:38 Éx 21:24; Lv 24:20; Dt 19:21. 39Pero yo digo: No resistan al que les haga mal. Si alguien te da una bofetada en la mejilla derecha, vuélvele también la otra. 40Si alguien te pone pleito para quitarte la capa, déjale también la camisa. 41Si alguien te obliga a llevarle la carga una milla,5:41 Es decir, aprox. 1.5 km. llévasela dos. 42Al que te pida, dale; y al que quiera tomar de ti prestado, no le vuelvas la espalda.

El amor a los enemigos

43»Ustedes han oído que se dijo: “Ama a tu prójimo5:43 Lv 19:18. y odia a tu enemigo”. 44Pero yo digo: Amen a sus enemigos y oren por quienes los persiguen,5:44 Amen … persiguen. Var. Amen a sus enemigos, bendigan a quienes los maldicen, hagan bien a quienes los odian, y oren por quienes los ultrajan y los persiguen (véase Lc 6:27,28). 45para que sean hijos de su Padre que está en los cielos. Él hace que salga el sol sobre malos y buenos, y que llueva sobre justos e injustos. 46Si ustedes aman solamente a quienes los aman, ¿qué recompensa recibirán? ¿Acaso no hacen eso hasta los recaudadores de impuestos? 47Y si saludan a sus hermanos solamente, ¿qué de más hacen ustedes? ¿Acaso no hacen esto hasta los gentiles? 48Por tanto, sean perfectos como su Padre celestial es perfecto.

Luganda Contemporary Bible

Matayo 5:1-48

Yesu Ayigiriza ku Lusozi

1Awo Yesu bwe yalaba ng’ebibiina byeyongera obungi, n’alinnya ku lusozi, abayigirizwa be ne bajja gy’ali, 2n’abayigiriza ng’agamba nti:

35:3 nny 10, 19; Mat 25:34“Balina omukisa abaavu mu mwoyo,

kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.

45:4 Is 61:2, 3; Kub 7:17Balina omukisa abali mu nnaku,

kubanga abo balisanyusibwa.

55:5 Zab 37:11; Bar 4:13Balina omukisa abeetoowaze,

kubanga abo balisikira ensi.

65:6 Is 55:1, 2Balina omukisa abalumwa enjala olw’obutuukirivu

kubanga abo balikkusibwa.

7Balina omukisa ab’ekisa,

kubanga abo balikwatirwa ekisa.

85:8 a Zab 24:3, 4 b Beb 12:14; Kub 22:4Balina omukisa abalina omutima omulongoofu,

kubanga abo baliraba Katonda.

95:9 nny 44, 45; Bar 8:14Balina omukisa abatabaganya,

kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.

105:10 1Pe 3:14Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu,

kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.”

115:11 1Pe 4:14“Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. 125:12 a Bik 5:41; 1Pe 4:13, 16 b Mat 23:31, 37; Bik 7:52; 1Bs 2:15Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi ab’edda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”

Omunnyo n’Omusana

135:13 Mak 9:50; Luk 14:34, 35“Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.

145:14 Yk 8:12“Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi. 155:15 Mak 4:21; Luk 8:16Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju. 165:16 Mat 9:8Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

Okutuukiriza Amateeka

175:17 Bar 3:31“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza. 185:18 Luk 16:17Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. 195:19 Yak 2:10Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 20Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”

Etteeka ly’Obutemu

215:21 Kuv 20:13; Ma 5:17“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’ 225:22 a 1Yk 3:15 b Mat 26:59 c Yak 3:6Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.

23“Bw’obanga oli mu maaso ga Katonda, ng’omuleetedde ekirabo eky’okuwaayo nga ssaddaaka, n’ojjukira nga waliwo gw’olinako ensonga, 24ekirabo kyo sooka okireke awo oddeyo omale okumwetondera mutegeeragane, olyoke okomewo oweeyo ekirabo kyo eri Katonda.

25“Tegeeragananga mangu n’oyo akuwawaabira nga mukyali mu kkubo aleme kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi okukuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale okukuteeka mu kkomera. 26Nkutegeeza nti Olibeera omwo okutuusa lw’olimalayo byonna by’obanjibwa.”

Etteeka ly’Obwenzi

275:27 Kuv 20:14; Ma 5:18“Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’ 285:28 Nge 6:25Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. 295:29 Mat 18:6, 8, 9; Mak 9:42-47Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ng’ebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. 30Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ng’ekitundu ky’omubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena n’ebitundu by’omubiri gwo byonna. 315:31 Ma 24:1-4Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba.’ 325:32 Luk 16:18Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”

Okulayira

335:33 a Lv 19:12 b Kbl 30:2; Ma 23:21“Mwawulira bwe kyagambibwa ab’edda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’ 345:34 a Yak 5:12 b Is 66:1; Mat 23:22Naye mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe y’obwakabaka bwa Katonda. 355:35 Zab 48:2Temulayiranga nsi, kubanga y’entebe y’ebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga ky’ekibuga kya Kabaka omukulu. 36Era tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza na kufuula luviiri lwo olumu okuba olweru oba oluddugavu. 375:37 a Yak 5:12 b Mat 6:13; 13:19, 38; Yk 17:15; 2Bs 3:3; 1Yk 2:13, 14; 3:12Naye muddangamu buzzi nti, ‘Weewaawo.’ Oba nti, ‘Si weewaawo’. Kubanga bw’ogezaako okukakasa ebigambo byo n’okulayira kiraga nti waliwo ekitali kituufu.”

Eriiso Okugatta Eriiso

385:38 Kuv 21:24; Lv 24:20; Ma 19:21“Mwawulira nga kyagambibwa nti, ‘Omuntu bw’anaggyangamu eriiso lya munne n’erirye linaggibwangamu. Oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu.’ 395:39 Luk 6:29; Bar 12:17, 19; 1Ko 6:7; 1Pe 3:9Naye mbagamba nti, Temuwakananga na mubi, naye omuntu bw’akukubanga oluyi ku ttama erya ddyo omukyusizanga n’ettama eryokubiri. 40Omuntu bw’ayagalanga okuwoza naawe atwale essaati yo, omulekeranga n’ekkooti yo. 41N’oyo akuwalirizanga okumwetikkirako omugugu gwe kilomita emu, omutwalirangako n’eyokubiri. 425:42 Ma 15:8; Luk 6:30Akusaba omuwanga, n’oyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega.”

Mwagale Abalabe Bammwe

435:43 a Lv 19:18 b Ma 23:6“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’ 445:44 Luk 6:27, 28; 23:34; Bik 7:60; Bar 12:14; 1Ko 4:12; 1Pe 2:23Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya! 455:45 a nny 9 b Yob 25:3Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi, era n’enkuba agitonnyeza ab’amazima n’abatali ba mazima. 465:46 Luk 6:32Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? N’abawooza bwe bakola bwe batyo. 47Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki n’abalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo. 485:48 Lv 19:2; 1Pe 1:16Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu.”