مزمور 120 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

مزمور 120:1-7

الْمَزْمُورُ الْمِئَةُ وَالْعِشْرُونَ

تَرْنِيمَةُ الْمَصَاعِدِ

1صَرَخْتُ إِلَى الرَّبِّ فِي ضِيقِي فَاسْتَجَابَ لِي. 2نَجِّ نَفْسِي يَا رَبُّ مِنَ الشِّفَاهِ الْكَاذِبَةِ وَاللِّسَانِ الْمُنَافِقِ. 3أَيُّ نَفْعٍ يَأْتِينِي مِنَ اللِّسَانِ الغَشَّاشِ؟ 4إِنَّهُ كَسِهَامِ الْجَبَّارِ الحَادَّةِ وَكَالْجَمْرِ الأَحْمَرِ الْمُلْتَهِبِ. 5وَيْلِي لأَنِّي تَغَرَّبْتُ فِي مَاشِكَ، وَسَكَنْتُ فِي خِيَامِ قِيدَارَ. 6طَالَ سَكَنِي مَعَ أُنَاسٍ يُبْغِضُونَ السَّلامَ. 7أَنَا رَجُلُ سَلامٍ، وَكُلَّمَا دَعَوْتُ إِلَيْهِ هَبُّوا هُمْ لِلْحَرْبِ.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 120:1-7

Zabbuli 120

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1120:1 Zab 102:2; Yon 2:2Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,

era n’annyanukula.

2120:2 a Nge 12:22 b Zab 52:4Omponye, Ayi Mukama,

emimwa egy’obulimba,

n’olulimi olw’obukuusa.

3Onooweebwa ki,

era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?

4120:4 Zab 45:5Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,

n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.

5120:5 Lub 25:13; Yer 49:28Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;

nsula mu weema za Kedali!

6Ndudde nnyo

mu bantu abakyawa eddembe.

7Nze njagala mirembe,

naye bwe njogera bo baagala ntalo.