القضاة 11 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

القضاة 11:1-40

1وَكَانَ يَفْتَاحُ الْجِلْعَادِيُّ مُحَارِباً شَدِيدَ الْبَأْسِ، أَنْجَبَهُ أَبُوهُ جِلْعَادُ مِنِ امْرَأَةٍ عَاهِرَةٍ. 2وَأَنْجَبَ جِلْعَادُ أَيْضاً عَدَداً مِنَ الأَبْنَاءِ مِنْ زَوْجَتِهِ، فَلَمَّا كَبُرُوا طَرَدُوا يَفْتَاحَ قَائِلِينَ لَهُ: «أَنْتَ ابْنُ عَاهِرَةٍ، وَلَنْ تَرِثَ شَيْئاً مِنْ بَيْتِ أَبِينَا». 3فَهَرَبَ يَفْتَاحُ مِنْ إِخْوَتِهِ وَأَقَامَ فِي أَرْضِ طُوبٍ، فاجْتَمَعَ إِلَيْهِ رِجَالٌ بَطَّالُونَ وَتَبِعُوهُ.

4وَبَعْدَ زَمَنٍ، حَارَبَ بَنُو عَمُّونَ إِسْرَائِيلَ، 5فَمَضَى شُيُوخُ جِلْعَادَ لِيَأْتُوا بِيَفْتَاحَ مِنْ أَرْضِ طُوبٍ، 6وَقَالُوا لَهُ: «تَعَالَ وَكُنْ قَائِداً لَنَا فِي حَرْبِنَا مَعَ الْعَمُّونِيِّينَ». 7فَأَجَابَهُمْ يَفْتَاحُ: «أَلَمْ تُبْغِضُونِي وَتَطْرُدُونِي مِنْ بَيْتِ أَبِي؟ فَمَا بَالُكُمْ تَأْتُونَ إِلَيَّ فِي ضِيقَتِكُمْ؟» 8فَأَجَابُوهُ: «لأَنَّنَا فِي ضِيقٍ جِئْنَا إِلَيْكَ لِتَرْجِعَ مَعْنَا وَتُحَارِبَ بَنِي عَمُّونَ، وَتَكُونَ رَئِيساً عَلَى كُلِّ سُكَّانِ جِلْعَادَ». 9فَقَالَ لَهُمْ: «إِنْ أَرْجَعْتُمُونِي لِمُحَارَبَةِ بَنِي عَمُّونَ وَهَزَمَهُمُ الرَّبُّ أَمَامِي، فَهَلْ حَقّاً تَجْعَلُونَنِي رَئِيساً عَلَيْكُمْ؟» 10فَأَجَابُوهُ: «الرَّبُّ شَاهِدٌ بَيْنَنَا إِنْ كُنَّا لَا نَفْعَلُ حَسَبَ قَوْلِكَ». 11فَانْطَلَقَ يَفْتَاحُ مَعَ شُيُوخِ جِلْعَادَ فَنَصَبَهُ الشَّعْبُ عَلَيْهِمْ رَئِيساً وَقَائِداً، وَرَدَّدَ يَفْتَاحُ تَعَهُّدَاتِهِ أَمَامَ الرَّبِّ فِي الْمِصْفَاةِ.

12ثُمَّ بَعَثَ يَفْتَاحُ رُسُلاً إِلَى مَلِكِ عَمُّونَ يَسْأَلُهُ: «مَاذَا تُضْمِرُ ضِدَّنَا حَتَّى أَتَيْتَ لِتُهَاجِمَنَا فِي بِلادِنَا؟» 13فَأَجَابَ مَلِكُ عَمُّونَ رُسُلَ يَفْتَاحَ: «لأَنَّ إِسْرَائِيلَ قَدِ اسْتَوْلَى عَلَى أَرْضِي عِنْدَ خُرُوجِهِ مِنْ مِصْرَ مِنْ أَرْنُونَ إِلَى يَبُّوقَ حَتَّى نَهْرِ الأُرْدُنِّ. وَالآنَ رُدَّهَا مِنْ غَيْرِ حَرْبٍ». 14فَعَادَ يَفْتَاحُ فَبَعَثَ رُسُلاً إِلَى مَلِكِ بَنِي عَمُّونَ، 15قَائِلِينَ لَهُ: «هَذَا مَا يُجِيبُكَ بِهِ يَفْتَاحُ: إِنَّ بَنِي إِسْرَائِيلَ لَمْ يَسْتَوْلُوا عَلَى أَرْضِ مُوآبَ وَلا عَلَى أَرْضِ بَنِي عَمُّونَ، 16لأَنَّهُ عِنْدَ خُرُوجِهِمْ مِنْ مِصْرَ سَارُوا فِي الصَّحْرَاءِ حَتَّى بَلَغُوا الْبَحْرَ الأَحْمَرَ وَأَتَوْا إِلَى قَادَشَ. 17ثُمَّ بَعَثَ الإِسْرَائِيلِيُّونَ رُسُلاً إِلَى مَلِكِ أَدُومَ يَقُولُونَ لَهُ: دَعْنَا نَجْتَازُ فِي أَرْضِكَ. فَلَمْ يَأْذَنْ لَهُمْ مَلِكُ أَدُومَ. ثُمَّ بَعَثُوا رُسُلاً أَيْضاً إِلَى مَلِكِ مُوآبَ فَرَفَضَ هُوَ الآخَرُ. فَمَكَثَ الإِسْرَائِيلِيُّونَ فِي قَادَشَ. 18ثُمَّ دَارُوا فِي الصَّحْرَاءِ مُلْتَفِّينَ حَوْلَ أَرْضِ أَدُومَ وَأَرْضِ مُوآبَ قَادِمِينَ مِنَ الشَّرْقِ إِلَى أَرْضِ مُوآبَ، وَخَيَّمُوا وَرَاءَ حُدُودِ أَرْنُونَ، وَلَمْ يَعْبُرُوا إِلَى تُخْمِ مُوآبَ لأَنَّ أَرْنُونَ هِيَ حَدُّ مُوآبَ. 19بَعْدَ ذَلِكَ بَعَثَ بَنُو إِسْرَائِيلَ رُسُلاً إِلَى سِيحُونَ مَلِكِ الأَمُورِيِّينَ فِي عَاصِمَتِهِ حَشْبُونَ يَقُولُونَ: دَعْنَا نَعْبُرُ فِي أَرْضِكَ إِلَى حَيْثُ نَحْنُ مُتَوَجِّهُونَ. 20وَلَكِنَّ سِيحُونَ لَمْ يَأْمَنْ أَنْ يَعْبُرَ الإِسْرَائِيلِيُّونَ فِي أَرْضِهِ، بَلْ حَشَدَ كُلَّ جَيْشِهِ وَعَسْكَرَ فِي يَاهَصَ وَحَارَبَ بَنِي إِسْرَائِيلَ. 21فَنَصَرَ الرَّبُّ إِلَهُ إِسْرَائِيلَ شَعْبَهُ عَلَى سِيحُونَ وَجَيْشِهِ، فَهَزَمُوهُمْ وَاسْتَوْلَوْا عَلَى كُلِّ أَرْضِ الأَمُورِيِّينَ سُكَّانِ تِلْكَ الْبِلادِ. 22فَامْتَلَكُوا كُلَّ بِلادِ الأَمُورِيِّينَ مِنْ أَرْنُونَ فِي الْجَنُوبِ إِلَى الْيَبُّوقِ فِي الشِّمَالِ، وَمِنَ الصَّحْرَاءِ فِي الشَّرْقِ إِلَى نَهْرِ الأُرْدُنِّ فِي الْغَرْبِ. 23وَالآنَ وَقَدْ طَرَدَ الرَّبُّ إِلَهُ إِسْرَائِيلَ الأَمُورِيِّينَ مِنْ أَمَامِ شَعْبِهِ إِسْرَائِيلَ، 24فَبِأَيِّ حَقٍّ تُرِيدُ أَنْتَ أَنْ تَسْتَرِدَّهَا؟ أَلَسْتَ تَحْتَفِظُ بِمَا أَعْطَاهُ لَكَ كَمُوشُ إِلَهُكَ؟ وَنَحْتَفِظُ نَحْنُ أَيْضاً بِمَا أَعْطَاهُ لَنَا الرَّبُّ إِلَهُنَا؟ 25ثُمَّ هَلْ أَنْتَ أَفْضَلُ مِنْ بَالاقَ بْنِ صِفُّورَ مَلِكِ مُوآبَ؟ هَلْ خَاصَمَ بَنِي إِسْرَائِيلَ أَوْ أَثَارَ عَلَيْهِمْ حَرْباً؟ 26لَقَدْ أَقَامَ بَنُو إِسْرَائِيلَ فِي حَشْبُونَ وَقُرَاهَا، وَعَرُوعِيرَ وَقُرَاهَا وَكُلِّ الْمُدُنِ الَّتِي عَلَى مُحَاذَاةِ نَهْرِ أَرْنُونَ ثَلاثَ مِئَةِ سَنَةٍ، فَلِمَاذَا لَمْ تَسْتَرِدَّهَا طَوَالَ تِلْكَ الْحِقْبَةِ؟ 27إِنَّنِي لَمْ أُسِئْ إِلَيْكَ، أَمَّا أَنْتَ فَتَرْتَكِبُ شَرّاً فِي حَقِّي بِإِثَارَتِكَ الْحَرْبَ عَلَيَّ. فَلْيَكُنِ الرَّبُّ الْيَوْمَ قَاضِياً بَيْنَ بَنِي إِسْرَائِيلَ وَبَيْنَ بَنِي عَمُّونَ». 28فَلَمْ يَأْبَهْ مَلِكُ بَنِي عَمُّونَ لِرِسَالَةِ يَفْتَاحَ.

29فَحَلَّ رُوحُ الرَّبِّ عَلَى يَفْتَاحَ، فَاجْتَازَ أَرَاضِي جِلْعَادَ وَمَنَسَّى وَمِصْفَاةَ جِلْعَادَ، وَمِنْهَا تَقَدَّمَ نَحْوَ بَنِي عَمُّونَ. 30وَنَذَرَ يَفْتَاحُ نَذْراً لِلرَّبِّ وَقَالَ: «إِنْ نَصَرْتَنِي عَلَى بَنِي عَمُّونَ، 31فَإِنَّنِي عِنْدَ رُجُوعِي سَالِماً مِنْ مُحَارَبَةِ بَنِي عَمُّونَ أُصْعِدُ لِلرَّبِّ مُحْرَقَةً: أَوَّلَ مَنْ يَخْرُجُ مِنْ أَبْوَابِ بَيْتِي لِلِقَائِي». 32ثُمَّ تَقَدَّمَ يَفْتَاحُ لِمُحَارَبَةِ بَنِي عَمُّونَ، فَأَظْفَرَهُ الرَّبُّ بِهِمْ، 33وَهَزَمَهُمْ هَزِيمَةً مُنْكَرَةً مِنْ عَرُوعِيرَ حَتَّى مِنِّيتَ عَلَى امْتِدَادِ عِشْرِينَ مَدِينَةً إِلَى آبَلِ الْكُرُومِ. وَهَكَذَا أَخْضَعَ بَنُو إِسْرَائِيلَ الْعَمُّونِيِّينَ.

34ثُمَّ رَجَعَ يَفْتَاحُ إِلَى بَيْتِهِ فِي الْمِصْفَاةِ، فَخَرَجَتِ ابْنَتُهُ الْوَحِيدَةُ، إِذْ لَمْ يَكُنْ لَهُ ابْنٌ أَوِ ابْنَةٌ سِوَاهَا، لِلِقَائِهِ بِدُفُوفٍ وَرَقْصٍ. 35فَلَمَّا رَآهَا مَزَّقَ ثِيَابَهُ وَوَلْوَلَ قَائِلاً: «آهِ يَا ابْنَتِي، لَقَدْ أَحْزَنْتِنِي وَحَطَّمْتِنِي، لأَنَّنِي نَذَرْتُ نَذْراً لِلرَّبِّ وَلا سَبِيلَ لِلرُّجُوعِ عَنْهُ». 36فَأَجَابَتْهُ: «لَقَدْ نَذَرْتَ نَذْرَكَ لِلرَّبِّ، فَافْعَلْ بِي كَمَا نَذَرْتَ، وَلاسِيَّمَا أَنَّ الرَّبَّ قَدِ انْتَقَمَ لَكَ مِنْ أَعْدَائِكَ بَنِي عَمُّونَ». 37ثُمَّ قَالَتْ لأَبِيهَا: «وَلَكِنْ حَقِّقْ لِي هَذَا الطَّلَبَ: أَمْهِلْنِي شَهْرَيْنِ أَتَجَوَّلُ فِيهِمَا فِي الْجِبَالِ وَأَنْدُبُ عَذْرَاوِيَّتِي مَعَ صَاحِبَاتِي». 38فَقَالَ لَهَا: «اذْهَبِي». وَأَمْهَلَهَا شَهْرَيْنِ قَضَتْهُمَا هِيَ وَصَاحِبَاتُهَا عَلَى الْجِبَالِ تَنْدُبُ عَذْرَاوِيَّتَهَا. 39ثُمَّ رَجَعَتْ فِي نِهَايَةِ الشَّهْرَيْنِ إِلَى أَبِيهَا، فَأَصْعَدَهَا مُحْرَقَةً وَفَاءً بِنَذْرِهِ، فَمَاتَتْ عَذْرَاءَ، 40فَصَارَ مِنْ عَادَةِ الإِسْرَائِيلِيَّاتِ أَنْ يَذْهَبْنَ إِلَى الْجِبَالِ أَرْبَعَةَ أَيَّامٍ فِي السَّنَةِ لِيَنُحْنَ عَلَى ابْنَةِ يَفْتَاحَ الْجِلْعَادِيِّ.

Luganda Contemporary Bible

Balam 11:1-40

111:1 a Beb 11:32 b Bal 6:12Yefusa Omugireyaadi yali mulwanyi w’amaanyi; kitaawe yamuzaala mu malaaya. 2Mukazi wa Gireyaadi yali amuzaalidde abaana aboobulenzi, era abaana b’omukazi oyo bwe baakula, ne bagobaganya Yefusa nga bagamba nti, “Tolisikira wamu naffe ku bintu bya kitaffe, kubanga kitaffe yakuzaala mu mukazi mulala.” 311:3 a 2Sa 10:6, 8 b Bal 9:4Awo Yefusa n’adduka baganda be, n’agenda n’abeera mu nsi ye Tobu. Abasajja abataaliko kigendererwa ne bakuŋŋaana gy’ali ne bamugoberera.

411:4 Bal 10:9Oluvannyuma lw’ebbanga abaana ba Amoni ne bakola olutalo ku Isirayiri. 5Awo abaana ba Amoni bwe baali nga balwana ne Isirayiri, abakadde ab’e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa mu nsi ya Tobu. 6Ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere tulwanyise abaana ba Amoni.”

711:7 Lub 26:27Yefusa n’agamba abakadde b’e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Lwaki kaakano mujja gye ndi nga mulina ekizibu?”

811:8 Bal 10:18Abakadde b’e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gy’oli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, n’oluvannyuma onoobeera mukulembeze w’abo bonna ababeera mu Gireyaadi.”

9Yefusa n’abaddamu nti, “Singa munzizaayo ne nnwana n’abaana ba Amoni, Mukama n’abampangusiza, n’abeera omukulembeze wammwe?”

1011:10 Lub 31:50; Yer 42:5Abakadde b’e Gireyaadi ne baddamu Yefusa nti, “Mukama ye mujulirwa waffe, bwe tutaatuukirize kigambo ekyo.” 1111:11 Yos 11:3; Bal 10:17; 20:1; 1Sa 10:17Awo Yefusa n’agenda n’abakadde b’e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omuduumizi, n’addamu ebigambo byonna bye yayogera mu maaso ga Mukama mu Mizupa.

12Yefusa n’atuma ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni, ng’amugamba nti, “Onnanga ki ggwe, okujja gye ndi, olwanyise eggwanga lyange?”

1311:13 Lub 32:22; Kbl 21:24Kabaka w’abaana ba Amoni n’addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isirayiri bwe baali bava e Misiri baatwala ensi yange okuva ku Alunoni ne ku Yaboki n’okutuukira ddala ku Yoludaani. Kaakano gituddize lwa mirembe.”

14Awo Yefusa n’addamu n’aweereza ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni 1511:15 a Ma 2:9 b Ma 2:19ng’agamba nti,

“Yefusa bw’ati bw’ayogera nti, ‘Isirayiri teyatwala nsi ya Mowaabu newaakubadde ensi y’abaana ba Amoni. 1611:16 a Kbl 14:25; Ma 1:40 b Kbl 20:1Naye Isirayiri bwe baava mu Misiri ne baba nga bayita mu ddungu nga balaga ku Nnyanja Emyufu n’e Kadesi, 1711:17 a Kbl 20:14 b Kbl 20:18, 21 c Yos 24:9Isirayiri yatuma ababaka eri kabaka wa Edomu nga bamusaba bayitemu buyisi mu nsi ye. Naye ye teyabawuliriza. Isirayiri n’atuma n’ababaka eri kabaka wa Mowaabu, naye n’atabakkiriza kuyitamu. Isirayiri kyeyava asigala e Kadesi.

1811:18 a Kbl 21:4 b Ma 2:8 c Kbl 21:13“ ‘Awo Isirayiri n’alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n’ensi ya Mowaabu, n’ayita ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’ensi ya Mowaabu, ne basiisira emitala wa Alunoni ku nsalo ya Mowaabu.

1911:19 Kbl 21:21-22; Ma 2:26-27“ ‘Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli era kabaka w’e Kesuboni, ng’amusaba ng’agamba nti, Tukkirize tuyitemu tulage mu nsi yaffe. 2011:20 Kbl 21:23; Ma 2:32Naye Sikoni n’ateesiga Isirayiri kuyita mu nsalo ye, era Sikoni n’akuŋŋaanya abantu be bonna, ne basiisira mu Yakazi, n’alwanyisa Isirayiri.’

21“ ‘Mukama Katonda wa Isirayiri n’agabula Sikoni n’abantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, n’abawangula, era Isirayiri n’atwala ensi yonna ey’Abamoli. 2211:22 Ma 2:36Ne bawamba ensalo yonna ey’Abamoli okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Yoludaani.

23“ ‘Kaakano obanga Mukama Katonda wa Isirayiri yagoba Abamoli mu maaso g’abantu be Isirayiri, ggwe ani okulwanyisa Isirayiri? 2411:24 Kbl 21:29; Yos 3:10; 1Bk 11:7Lwaki totwala ensi lubaale wo Kemosi gye yakuwa, naffe ne tutwala eyo Mukama Katonda waffe gye yatuwa? 2511:25 a Kbl 22:2 b Yos 24:9Ddala ddala osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali akaayanyizza Isirayiri wadde okubalwanyisa? 2611:26 Kbl 21:25Isirayiri emaze emyaka ebikumi bisatu mu Kesuboni n’ebyalo byayo, ne mu Aloweri n’ebyalo byayo, ne mu bibuga byonna ebiri ku lubalama lwa Alunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo? 2711:27 a Lub 18:25 b Lub 16:5; 31:53; 1Sa 24:12, 15Kaakano sirina kye nkusobezza naye ggwe onnumbye okulwana nange. Kale Mukama, Omulamuzi, leero alamule wakati w’abaana ba Isirayiri n’abaana ba Amoni.’ ”

28Naye kabaka w’abaana ba Amoni n’atassaayo mwoyo ku bubaka Yefusa bwe yamutumira.

2911:29 Kbl 11:25; Bal 3:10; 6:34; 14:6, 19; 15:14; 1Sa 11:6; 16:13; Is 11:2Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni. 3011:30 Lub 28:20Yefusa ne yeeyama eri Mukama Katonda ng’agamba nti, “Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, 31ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”

32Awo Yefusa n’alumba abaana ba Amoni n’abalwanyisa, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwe. 3311:33 Ez 27:17N’abakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, bye bibuga amakumi abiri, n’okutuukira ddala ku Aberukeramimu; n’abakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni.

3411:34 Kuv 15:20; Yer 31:4Awo Yefusa bwe yakomawo e Mizupa mu maka ge, laba muwala we n’ajja okumukulisaayo ng’akuba ebitaasa era ng’amuzinira. Ye mwana yekka gwe yalina. 3511:35 Kbl 30:2; Mub 5:2, 4, 5Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”

3611:36 a Luk 1:38 b 2Sa 18:19Awo muwala we n’amugamba nti, “Kitange weeyama eri Mukama. Kola ekyo kye weeyama eri Mukama Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.” 37N’agamba kitaawe nti, “Nkusaba ekintu kimu kyokka, onzikirize ŋŋende ne mikwano gyange mu nsozi okumala emyezi ebiri, ne kaabireko kubanga ndi mbeerera.”

38N’amugamba nti, “Genda.” N’agenda n’amala emyezi ebiri mu nsozi ng’ali ne bawala banne nga yeekaabirako olw’okuba yali mbeerera. 39Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, omuwala n’akomawo eri kitaawe, era kitaawe n’amuwaayo, nga bwe yeeyama. Yali muwala mbeerera.

Era okwo kwe kwava empisa mu Isirayiri 40okuva mu biro ebyo, nti abawala mu Isirayiri bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi okumala ennaku nnya buli mwaka.