إرميا 30 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

إرميا 30:1-24

رجوع المسبيين

1ثُمَّ أَوْحَى الرَّبُّ بِهَذِهِ النُّبُوءَةِ إِلَى إِرْمِيَا قَائِلاً: 2هَذَا مَا يُعْلِنُهُ الرَّبُّ إِلَهُ إِسْرَائِيلَ: «دَوِّنْ فِي كِتَابٍ كُلَّ مَا أَمْلَيْتُهُ عَلَيْكَ، 3هَا أَيَّامٌ مُقْبِلَةٌ أَرُدُّ فِيهَا سَبْيَ شَعْبِي إِسْرَائِيلَ وَيَهُوذَا، وَأُعِيدُهُمْ إِلَى الأَرْضِ الَّتِي أَعْطَيْتُهَا لِآبَائِهِمْ فَيَرِثُونَهَا».

4ثُمَّ خَاطَبَ الرَّبُّ إِسْرَائِيلَ وَيَهُوذَا: بِهَذَا الْكَلامِ: 5«هَذَا مَا يُعْلِنُهُ الرَّبُّ: سَمِعْنَا صُرَاخَ رُعْبٍ. عَمَّ الْفَزَعُ وَانْقَرَضَ السَّلامُ. 6اسْأَلُوا وَتَأَمَّلُوا: أَيُمْكِنُ لِلرَّجُلِ أَنْ يَحْمِلَ؟ إِذاً مَالِي أَرَى كُلَّ رَجُلٍ يَضَعُ يَدَيْهِ عَلَى حَقْوَيْهِ كَامْرَأَةٍ تُقَاسِي مِنَ الْمَخَاضِ، وَقَدِ اكْتَسَى كُلُّ وَجْهٍ بِالشُّحُوبِ؟ 7مَا أَرْهَبَ ذَلِكَ الْيَوْمَ إِذْ لَا مَثِيلَ لَهُ! هُوَ زَمَنُ ضِيقٍ عَلَى ذُرِّيَّةِ يَعْقُوبَ، وَلَكِنَّهَا سَتَنْجُو مِنْهُ. 8فِي ذَلِكَ الْيَوْمِ، يَقُولُ الرَّبُّ الْقَدِيرُ، أُحَطِّمُ أَنْيَارَ أَعْنَاقِهِمْ، وَأَقْطَعُ رُبُطَهُمْ، فَلا يَسْتَعْبِدُهُمْ غَرِيبٌ فِيمَا بَعْدُ. 9بَلْ يَخْدِمُونَ الرَّبَّ إِلَهَهُمْ، وَدَاوُدَ مَلِكَهُمُ الَّذِي أُقِيمُهُ لَهُمْ.

10فَلا تَفْزَعْ يَا عَبْدِي يَعْقُوبَ، وَلا تَجْزَعْ يَا إِسْرَائِيلُ، فَإِنِّي أُخَلِّصُكَ مِنَ الْغُرْبَةِ، وَأُنْقِذُ ذُرِّيَّتَكَ مِنْ أَرْضِ سَبْيِهِمْ، فَيَرْجِعُ نَسْلُ إِسْرَائيلَ وَيَطْمَئِنُّ وَيَسْتَرِيحُ مِنْ غَيْرِ أَنْ يُضَايِقَهُ أَحَدٌ. 11لأَنِّي مَعَكَ لأُخَلِّصَكَ، يَقُولُ الرَّبُّ، فَأُبِيدُ جَمِيعَ الأُمَمِ الَّتِي شَتَّتُّكَ بَيْنَهَا. أَمَّا أَنْتَ فَلَنْ أُفْنِيَكَ بَلْ أُؤَدِّبَكَ بِالْحَقِّ وَلا أُبَرِّئَكَ تَبْرِئَةً كَامِلَةً». 12لأَنَّ هَذَا مَا يُعْلِنُهُ الَّربُّ: «إِنَّ جُرْحَكِ لَا شِفَاءَ لَهُ وَضَرْبَتَكِ لَا عِلاجَ لَهَا. 13إِذْ لَا يُوْجَدُ مَنْ يُدَافِعُ عَنْ دَعْوَاكِ، وَلا دَوَاءَ لِجُرْحِكِ، وَلا دَوَاءَ لَكِ. 14قَدْ نَسِيَكِ مُحِبُّوكِ، وَأَهْمَلُوكِ إِهْمَالاً، لأَنِّي ضَرَبْتُكِ كَمَا يَضْرِبُ عَدُوٌّ، وَعَاقَبْتُكِ عِقَابَ مُبْغِضٍ قَاسٍ، لأَنَّ إِثْمَكِ عَظِيمٌ وَخَطَايَاكِ مُتَكَاثِرَةٌ. 15لِمَاذَا تَنُوحِينَ مِنْ ضَرْبَتِكِ؟ إِنَّ جُرْحَكِ مُسْتَعْصٍ مِنْ جَرَّاءِ إِثْمِكِ الْعَظِيمِ وَخَطَايَاكِ الْمُتَكَاثِرَةِ، لِهَذَا أَوْقَعْتُ بِكِ الْمِحَنَ. 16وَلَكِنْ سَيَأْتِي يَوْمٌ يُفْتَرَسُ فِيهِ جَمِيعُ مُفْتَرِسِيكِ وَيَذْهَبُ جَمِيعُ مَضَايِقِيكِ إِلَى السَّبْي، وَيُصْبِحُ نَاهِبُوكِ مَنْهُوبِينَ، 17لأَنِّي أَرُدُّ لَكِ عَافِيَتَكِ وَأُبْرِئُ جِرَاحَكِ، يَقُولُ الرَّبُّ، لأَنَّكِ دُعِيتِ مَنْبُوذَةً، صِهْيَوْنَ الَّتِي لَا يَعْبَأُ بِها أَحَدٌ».

18وَهَذَا مَا يُعْلِنُهُ الرَّبُّ: «هَا أَنَا أَرُدُّ سَبْيَ ذُرِّيَّةِ يَعْقُوبَ إِلَى مَنَازِلِهِمْ، وَأَرْحَمُ مَسَاكِنَهُمْ، فَتُبْنَى الْمَدِينَةُ عَلَى رَابِيَتِهَا، وَيَنْتَصِبُ الْقَصْرُ كَالْعَهْدِ بِهِ. 19وَتَصْدُرُ عَنْهُمْ تَرَانِيمُ الشُّكْرِ مَعَ أَهَازِيجِ أَصْوَاتِ الْمُطْرِبِينَ، وَأُكَثِّرُهُمْ فَلا يَكُونُونَ قِلَّةً، وَأُكْرِمُهُمْ فَلا يَسْتَذِلُّونَ. 20وَيَكُونُ أَبْنَاؤُهُمْ مُفْلِحِينَ كَمَا فِي الْعَهْدِ الْغَابِرِ، وَيَثْبُتُ جُمْهُورُهُمْ أَمَامِي، وَأُعَاقِبُ جَمِيعَ مُضَايِقِيهِمْ. 21وَيَكُونُ قَائِدُهُمْ مِنْهُمْ، وَيَخْرُجُ حَاكِمُهُمْ مِنْ وَسَطِهِمْ فَأَسْتَدْنِيهِ فَيَدْنُو مِنِّي، إِذْ مَنْ يَجْرُؤُ عَلَى الاقْتِرَابِ مِنِّي مِنْ نَفْسِهِ؟ 22وَتَكُونُونَ لِي شَعْباً وَأَكُونُ لَكُمْ إِلَهاً».

23انْظُرُوا، هَا عَاصِفَةُ غَضَبِ الَّربِّ قَدْ تَفَجَّرَتْ، زَوْبَعَةٌ هَائِجَةٌ تَثُورُ فَوْقَ رُؤُوسِ الأَشْرَارِ. 24لَنْ يَرْتَدَّ غَضَبُ الرَّبِّ الْمُحْتَدِمُ حَتَّى يُنْجِزَ وَيُنَفِّذَ مَقَاصِدَ فِكْرِهِ. وَهَذَا مَا سَتَفْهَمُونَهُ فِي آخِرِ الأَيَّامِ.

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 30:1-24

Isirayiri Azzibwawo

1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti, 230:2 Is 30:8“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe. 330:3 a Yer 29:14 b Yer 16:15Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”

4Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti, 530:5 Yer 6:25“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,

bulabe teri mirembe.

630:6 Yer 4:31Mubuuze mulabe.

Omusajja alumwa okuzaala?

Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi

ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,

buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?

730:7 a Is 2:12; Yo 2:11 b Zef 1:15 c nny 10Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!

Tewali lulirufaanana.

Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,

naye aliwona n’akiyitamu.

830:8 a Is 9:4 b Ez 34:27“ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,

ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe

era ne mbasaleko amasamba,

ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

930:9 a Is 55:3-4; Luk 1:69; Bik 2:30; 13:23 b Ez 34:23-24; 37:24; Kos 3:5Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe

ne Dawudi kabaka waabwe

gwe ndibayimusiza.

1030:10 a Is 43:5; Yer 46:27-28 b Is 44:2 c Yer 29:14 d Is 35:9“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,

toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’

bw’ayogera Mukama.

‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,

nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.

Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,

era tewali n’omu alimutiisatiisa.

1130:11 a Yer 4:27; 46:28 b Yer 10:24 c Am 9:8Ndi wamu nammwe

era ndibalokola,

wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,

siribazikiririza ddala mmwe,’

bw’ayogera Mukama.

Ndibakangavvula n’obwenkanya,

siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.

1230:12 Yer 15:18“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,

Ebisago byo si byakuwona.

1330:13 Yer 8:22; 14:19; 46:11Tewali n’omu wa kukuwolereza,

tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.

1430:14 a Yer 22:20; Kgb 1:2 b Yob 13:24 c Yob 30:21 d Yer 5:6Abakuyamba bonna bakwerabidde

tebakufaako.

Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze

ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,

kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo

n’ebibi byo bingi ddala.

15Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,

obulumi bwo obutaliiko ddagala?

Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo

nkuleeseeko ebintu bino.

1630:16 a Is 33:1; Yer 2:3; 10:25 b Is 14:2; Yo 3:4-8 c Yer 50:10“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,

abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.

Abo abaakunyaga balinyagibwa,

abo abaakwelula balyelulwa.

1730:17 Yer 33:24Naye ndikuzzaawo owone,

ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,

‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,

Sayuuni atalina n’omu amufaako.’

1830:18 a nny 3; Yer 31:23 b Zab 102:13 c Yer 31:4, 24, 38“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo

era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.

Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,

n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.

1930:19 a Is 35:10; 51:11 b Is 51:3 c Zab 126:1-2; Yer 31:4 d Yer 33:22 e Is 60:9Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza

era n’eddoboozi ery’okujaguza,

ndibaaza, era tebaliba batono,

ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.

2030:20 a Is 54:13; Yer 31:17 b Is 54:14Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,

era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.

Ndibonereza bonna ababanyigiriza.

2130:21 a nny 9 b Kbl 16:5Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;

omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.

Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,

kubanga ani oyo alyewaayo

okunyiikira okubeera okumpi nange?’

bw’ayogera Mukama.

22‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,

nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”

2330:23 Yer 23:19Laba, omuyaga gwa Mukama

gulikuntira mu kiruyi,

empewo ey’amaanyi

eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.

2430:24 a Yer 4:8 b Yer 4:28 c Yer 23:19-20Obusungu bwa Mukama obubuubuuka

tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza

ekigendererwa ky’omutima gwe.

Mu nnaku ezirijja,

kino mulikitegeera.