أيوب 6 – NAV & LCB

Ketab El Hayat

أيوب 6:1-30

أيوب

1فَأَجَابَ أَيُّوبُ: 2«لَوْ أَمْكَنَ وَضْعُ حُزْنِي وَمُصِيبَتِي فِي مِيزَانٍ، 3إِذَنْ لَكَانَا أَثْقَلَ مِنْ رَمْلِ الْبَحْرِ، لِهَذَا أَلْغُو بِكَلامِي. 4لأَنَّ سِهَامَ الْقَدِيرِ نَاشِبَةٌ فِيَّ، وَرُوحِي تَشْرَبُ مِنْ سُمِّهَا، وَأَهْوَالَ اللهِ مُصْطَفَّةٌ ضِدِّي. 5أَيَنْهَقُ الْحِمَارُ الْوَحْشِيُّ عَلَى مَا لَدَيْهِ مِنْ عُشْبٍ، أَمْ يَخُورُ الثَّوْرُ عَلَى مَا لَدَيْهِ مِنْ عَلَفٍ؟ 6أَيُمْكِنُ أَنْ يُؤْكَلَ مَا لَا طَعْمَ لَهُ مِنْ غَيْرِ مِلْحٍ، أَمْ أَنَّ هُنَاكَ مَذَاقاً لِبَيَاضِ الْبَيْضَةِ؟ 7لَقَدْ عَافَتْ نَفْسِي أَنْ تَمَسَّهُ لأَنَّ مِثْلَ هَذَا الطَّعَامِ يُسْقِمُنِي.

8آهِ! لَيْتَ طِلْبَتِي تُسْتَجَابُ وَيُحَقِّقُ اللهُ رَجَائِي، 9فَيَرْضَى اللهُ أَنْ يَسْحَقَنِي وَيَمُدَّ يَدَهُ وَيَسْتَأْصِلَنِي، 10فَتَبْقَى لِي تَعْزِيَةٌ وَبَهْجَةٌ أَنَّنِي فِي خِضَمِّ آلامِي لَمْ أَجْحَدْ كَلامَ الْقُدُّوسِ. 11مَا هِيَ قُوَّتِي حَتَّى أَنْتَظِرَ؟ وَمَا هُوَ مَصِيرِي حَتَّى أَتَصَبَّرَ؟ 12أَقُوَّةُ الْحِجَارَةِ قُوَّتِي؟ أَمْ لَحْمِي مِنْ نُحَاسٍ؟ 13حَقّاً لَمْ تَعُدْ لَدَيَّ قُوَّةٌ لأُغِيثَ نَفْسِي، وَكُلُّ عَوْنٍ قَدْ أُقْصِيَ عَنِّي.

14الإِنْسَانُ الْمَكْرُوبُ يَحْتَاجُ إِلَى وَفَاءِ أَصْدِقَائِهِ، حَتَّى لَوْ تَخَلَّى عَنْ خَشْيَةِ الْقَدِيرِ. 15قَدْ غَدَرَ بِي إِخْوَانِي كَسَيْلٍ انْقَطَعَ مَاؤُهُ، وَكَمِيَاهِ الأَوْدِيَةِ الْعَابِرَةِ، 16الَّتِي عَكَّرَهَا الْبَرَدُ حَيْثُ يَخْتَفِي فِيهَا الْجَلِيدُ، 17فَتَتَلاشَى فِي فَصْلِ الْجَفَافِ، وَتَخْتَفِي مِنْ مَكَانِهَا عِنْدَ اشْتِدَادِ الْحَرِّ، 18فَتَحِيدُ الْقَوَافِلُ عَنْ طَرِيقِهَا وَتُوْغِلُ فِي التِّيهِ فَتَهْلِكُ. 19بَحَثَتْ عَنْهَا قَوَافِلُ تَيْمَاءَ، وَقَوَافِلُ سَبَأَ رَجَتِ الْعُثُورَ عَلَيْهَا. 20اعْتَرَتْهُمُ الْخَيْبَةُ لأَنَّهُمْ أَمَّلُوا فِيهَا، وَعِنْدَمَا أَقْبَلُوا إِلَيْهَا اسْتَبَدَّ بِهِمِ الْخَجَلُ. 21وَالآنَ قَدْ أَصْبَحْتُمْ مِثْلَهَا. أَبْصَرْتُمْ بَلِيَّتِي فَفَزَعْتُمْ. 22هَلْ طَلَبْتُ مِنْكُمْ شَيْئاً، أَوْ سَأَلْتُكُمْ أَنْ تَرْشُوا مِنْ مَالِكُمْ مِنْ أَجْلِي؟ 23هَلْ قُلْتُ: أَنْقِذُونِي مِنْ قَبْضَةِ الْخَصْمِ، أَوِ افْدُونِي مِنْ نِيرِ الْعُتَاةِ؟

24عَلِّمُونِي فَأَسْكُتَ، وَأَفْهِمُونِي مَا ضَلَلْتُ فِيهِ. 25مَا أَشَدَّ وَقْعَ قَوْلِ الْحَقِّ، وَلَكِنْ عَلَى مَاذَا يُبَرْهِنُ تَوْبِيخُكُمْ؟ 26أَتَبْغُونَ مُقَارَعَةَ كَلامِي بالْحُجَّةِ، وَكَلِمَاتُ الْبَائِسِ تَذْهَبُ أَدْرَاجَ الرِّيَاحِ؟ 27أَنْتُمْ تُلْقُونَ الْقُرْعَةَ حَتَّى عَلَى الْيَتِيمِ، وَتُسَاوِمُونَ عَلَى الصَّدِيقِ. 28وَالآنَ تَلَطَّفُوا بِالنَّظَرِ إِلَيَّ لأَنَّنِي لَنْ أَكْذِبَ عَلَيْكُمْ. 29ارْجِعُوا، لَا تَكُونُوا حَائِرِينَ، فَإِنَّ أَمَانَتِي مُعَرَّضَةٌ لِلاتِّهَامِ. 30أَفِي لِسَانِي ظُلْمٌ، أَمْ مَذَاقِي لَا يُمَيِّزُ مَا هُوَ فَاسِدٌ؟

Luganda Contemporary Bible

Yobu 6:1-30

Yobu Ayanukula

1Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,

26:2 Yob 31:6“Singa okweraliikirira kwange,

n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!

36:3 a Nge 27:3 b Yob 23:2Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;

ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.

46:4 a Zab 38:2 b Yob 16:12, 13 c Yob 21:20 d Yob 30:15 e Zab 88:15-18Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze

n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:

entiisa ya Katonda erwana nange.

5Entulege ekaaba awali omuddo,

oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?

6Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,

oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?

76:7 Yob 3:24Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,

biri ng’emmere etangasa.

86:8 Yob 14:13“Singa Katonda ampa kye nsaba,

n’ampa kye nsuubira,

96:9 Kbl 11:15; 1Bk 19:4yandisiimye okumbetenta

ne mmalibwawo omukono gwe.

106:10 a Yob 22:22; 23:12 b Lv 19:2; Is 57:15Kino kyandikkakkanyizza

obulumi obutakoma

kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.

116:11 Yob 21:4Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?

Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?

12Amaanyi gange ga mayinja

oba omubiri gwange gwa kikomo?

136:13 Yob 26:2Mu mazima sirina maanyi

n’obusobozi bwanzigwako.

14Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe

tafaayo kutya Ayinzabyonna.

156:15 Zab 38:11; Yer 15:18Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga

ate ne kakalira,

16akaddugalirira

buli lwe kakwata, ng’omuzira,

176:17 Yob 24:19ate ne kaggwaawo

buli lwe wabaawo ebbugumu.

18Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo

ne biraga mu ddungu ne bizikirira.

196:19 Lub 25:15; Is 21:14Abatambuze b’e Teema banoonya,

bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.

206:20 Yer 14:3Baalina essuubi

naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.

216:21 Zab 38:11Kaakano bwe mundabye ne mutya

ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.

22Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’

oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,

23okumponya nve mu mukono gw’omulabe,

n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 

246:24 Zab 39:1“Njigiriza nange n’aba musirise;

ndaga we nsobezza.

256:25 Mub 12:11Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!

Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?

266:26 Yob 8:2; 15:3Mugezaako okugolola ebigambo byange,

ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?

276:27 Yo 3:3; Nak 3:10; 2Pe 2:3Mukubira ne bamulekwa akalulu

ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.

286:28 Yob 27:4; 33:1, 3; 36:3, 4“Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.

Ndabika ng’omulimba?

296:29 Yob 23:7, 10; 34:5, 36; 42:6Mufumiitirize, temusuula bwenkanya;

Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.

306:30 a Yob 27:4 b Yob 12:11Emimwa gyange girabika ng’egirimba?

Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”