ምሳሌ 3 – NASV & LCB

New Amharic Standard Version

ምሳሌ 3:1-35

ከጥበብ የሚገኝ ተጨማሪ በረከት

1ልጄ ሆይ፤ ትምህርቴን አትርሳ፤

ትእዛዞቼን በልብህ ጠብቅ፤

2ቀኖችን ይጨምሩልሃል፤ ዓመቶችንም ያረዝሙልሃል፤

ሕይወት፣ ሀብትንና ሰላምን ያበዙልሃል።

3ፍቅርና ታማኝነት ከቶ አይለዩህ፤

በዐንገትህ ዙሪያ እሰራቸው፤

በልብህም ጽላት ላይ ጻፋቸው።

4በዚያን ጊዜ ሞገስንና መልካም ስምን፣

በእግዚአብሔርና በሰው ዘንድ ታገኛለህ።

5በፍጹም ልብህ በእግዚአብሔር ታመን፤

በራስህ ማስተዋል አትደገፍ፤

6በመንገድህ ሁሉ እርሱን ዕወቅ፤

እርሱም ጐዳናህን ቀና ያደርገዋል።3፥6 ወይም ጐዳናህን ያቀናልሃል

7በራስህ አስተያየት ጠቢብ ነኝ አትበል፤

እግዚአብሔርን ፍራ፤ ከክፉም ራቅ።

8ይህም ለሰውነትህ ጤንነትን፣

ለዐጥንትህም ልምላሜን ያመጣልሃል።

9እግዚአብሔርን በሀብትህ፣

ከምርትህ ሁሉ በኵራት አክብረው፤

10ይህን ብታደርግ፣ ጎተራህ ሞልቶ ይትረፈረፋል፤

መጥመቂያህም በአዲስ የወይን ጠጅ ቲፍ ብሎ ይሞላል።

11ልጄ ሆይ፤ የእግዚአብሔርን ተግሣጽ አትናቅ፤

በዘለፋውም አትመረር፤

12አባት ደስ የሚሰኝበትን ልጁን እንደሚቀጣ3፥12 ወይም እንደሚገሥጽ ሁሉ፣

እግዚአብሔርም የሚወድደውን ይገሥጻልና።

13ጥበብን የሚያገኛት፣

ማስተዋልንም ገንዘቡ የሚያደርጋት ሰው ቡሩክ ነው፤

14እርሷ ከብር ይልቅ ትርፍ የምታመጣ፣

ከወርቅም ይልቅ ጥቅም የምታስገኝ ናትና።

15ከቀይ ዕንይበልጥ ውድ ናት፤

አንተ ከምትመኘውም ሁሉ የሚስተካከላት የለም።

16በቀኝ እጇ ረዥም ዕድሜ አለ፤

በግራ እጇም ሀብትና ክብር ይዛለች።

17መንገዷ ደስ የሚያሰኝ ነው፤

ጐዳናዋም ሁሉ ሰላም ነው።

18ለሚያቅፏት የሕይወት ዛፍ ናት፤

የሚይዟትም ይባረካሉ።

19እግዚአብሔር በጥበብ ምድርን መሠረተ፤

በማስተዋል ሰማያትን በየስፍራቸው አጸና፤

20በዕውቀቱ ቀላያት ተከፈሉ፤

ደመናትም ጠልን አንጠበጠቡ።

21ልጄ ሆይ፤ ትክክለኛ ፍርድንና አስተውሎ መለየትን ጠብቅ፤

እነዚህ ከእይታህ አይራቁ፤

22ለነፍስህ ሕይወት፣

ለዐንገትህም ጌጥ ይሆናሉ።

23ከዚያም መንገድህን በሰላም ትሄዳለህ፤

እግርህም አይሰናከልም፤

24ስትተኛ አትፈራም፤

ትተኛለህ እንቅልፍህም ጣፋጭ ይሆናል።

25ድንገተኛን መከራ፣

በክፉዎች ላይ የሚደርሰውንም ጥፋት አትፍራ፤

26እግዚአብሔር መታመኛህ ይሆናልና፤

እግርህንም በወጥመድ ከመያዝ ይጠብቃል።

27ማድረግ እየቻልህ

ለሚገባቸው መልካም ነገር ከማድረግ አትቈጠብ።

28አሁን በእጅህ እያለ፣

ጎረቤትህን፣ “ቈይተህ ተመለስ፤ ነገ እሰጥሃለሁ” አትበለው።

29አንተን ተማምኖ በአጠገብህ በተቀመጠ፣

በጎረቤትህ ላይ ክፉ አትምከርበት።

30ምንም ጕዳት ሳያደርስብህ፣

ያለ ምክንያት ሰውን አትክሰስ።

31በክፉ ሰው አትቅና፤

የትኛውንም መንገዱን አትምረጥ፤

32እግዚአብሔር ጠማማን ሁሉ ይጸየፋልና፤

ለቅን ሰው ግን ምስጢሩን ይገልጥለታል።

33የእግዚአብሔር ርግማን በክፉዎች ቤት ላይ ነው፤

የጻድቃንን ቤት ግን ይባርካል።

34እርሱ በዕቡያን ፌዘኞች ላይ ያፌዛል፤

ለትሑታን ግን ሞገስን ይሰጣል።

35ጠቢባን ክብርን ይወርሳሉ፤

ሞኞችን ግን ለውርደት ያጋልጣቸዋል።

Luganda Contemporary Bible

Engero 3:1-35

Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi

13:1 Nge 4:5Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,

era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,

23:2 Nge 4:10kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,

era bikukulaakulanye.

33:3 Kuv 13:9; Nge 6:21; 7:3; 2Ko 3:3Amazima n’ekisa tobyerabiranga;

byesibe mu bulago bwo,

obiwandiike ku mutima gwo.

43:4 1Sa 2:26; Luk 2:52Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa

eri Katonda n’eri abantu.

53:5 Zab 37:3, 5Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,

so teweesigamanga ku magezi go gokka.

63:6 a 1By 28:9 b Nge 16:3; Is 45:13Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,

naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

73:7 a Bar 12:16 b Yob 1:1; Nge 16:6Amagezi go tegakusigulanga,

naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.

83:8 a Nge 4:22 b Yob 21:24Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo

n’amagumba go ne gadda buggya.

Amagezi n’Obugagga

93:9 Kuv 22:29; 23:19; Ma 26:1-15Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,

103:10 a Ma 28:8 b Yo 2:24olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu,

era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.

113:11 Yob 5:17Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,

n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,

123:12 a Nge 13:24; Kub 3:19 b Ma 8:5; Beb 12:5-6*kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,

nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

13Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,

omuntu oyo afuna okutegeera,

143:14 Yob 28:15; Nge 8:19; 16:16kubanga amagezi gasinga ffeeza

era galimu amagoba okusinga zaabu.

153:15 a Yob 28:18 b Nge 8:11Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:

era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.

163:16 Nge 8:18Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;

ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.

173:17 Nge 16:7; Mat 11:28-30Mu magezi mulimu essanyu,

era n’amakubo gaago ga mirembe.

183:18 Lub 2:9; Nge 11:30; Kub 2:7Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;

abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.

193:19 a Zab 104:24 b Nge 8:27-29Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;

n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;

20n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja,

era n’ebire ne bivaamu omusulo.

Ab’amagezi Baweebwa Ekitiibwa

213:21 Nge 4:20-22Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana,

ebyo biremenga okukuvaako,

223:22 Nge 1:8-9binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo,

era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.

233:23 Zab 37:24; Nge 4:12Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo,

era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.

243:24 a Lv 26:6; Zab 3:5 b Yob 11:18Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya,

weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.

25Totyanga kabenje kootomanyiridde,

wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,

263:26 1Sa 2:9Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,

era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.

27Tommanga birungi abo be bisaanira

bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.

283:28 Lv 19:13; Ma 24:15Togambanga muliraanwa wo nti,

“Genda, onodda enkya ne nkuwa,”

ate nga kye yeetaaga okirina.

29Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo,

atudde emirembe ng’akwesiga.

30Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga

nga talina kabi k’akukoze.

313:31 Zab 37:1; Nge 24:1-2Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala,

era tokolanga nga ye bw’akola,

323:32 a Nge 11:20 b Yob 29:4; Zab 25:14kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama,

naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.

333:33 a Ma 11:28; Mal 2:2 b Zek 5:4 c Zab 1:3Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi,

naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu.

343:34 Yak 4:6*; 1Pe 5:5*Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi,

naye abeetoowaza abawa ekisa.

35Ab’amagezi balisikira ekitiibwa,

naye abasirusiru baliswazibwa.