The Message

Psalm 88

A Korah Prayer of Heman

11-9 God, you’re my last chance of the day.
    I spend the night on my knees before you.
Put me on your salvation agenda;
    take notes on the trouble I’m in.
I’ve had my fill of trouble;
    I’m camped on the edge of hell.
I’m written off as a lost cause,
    one more statistic, a hopeless case.
Abandoned as already dead,
    one more body in a stack of corpses,
And not so much as a gravestone—
    I’m a black hole in oblivion.
You’ve dropped me into a bottomless pit,
    sunk me in a pitch-black abyss.
I’m battered senseless by your rage,
    relentlessly pounded by your waves of anger.
You turned my friends against me,
    made me horrible to them.
I’m caught in a maze and can’t find my way out,
    blinded by tears of pain and frustration.

9-12 I call to you, God; all day I call.
    I wring my hands, I plead for help.
Are the dead a live audience for your miracles?
    Do ghosts ever join the choirs that praise you?
Does your love make any difference in a graveyard?
    Is your faithful presence noticed in the corridors of hell?
Are your marvelous wonders ever seen in the dark,
    your righteous ways noticed in the Land of No Memory?

13-18 I’m standing my ground, God, shouting for help,
    at my prayers every morning, on my knees each daybreak.
Why, God, do you turn a deaf ear?
    Why do you make yourself scarce?
For as long as I remember I’ve been hurting;
    I’ve taken the worst you can hand out, and I’ve had it.
Your wildfire anger has blazed through my life;
    I’m bleeding, black-and-blue.
You’ve attacked me fiercely from every side,
    raining down blows till I’m nearly dead.
You made lover and neighbor alike dump me;
    the only friend I have left is Darkness.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 88

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange,
    nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;
    otege okutu kwo nga nkukoowoola.

Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,
    era nsemberedde okufa.
Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;
    nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
Bandese wano ng’afudde,
    nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,
nga tokyaddayo kubajjukira,
    era nga tewakyali kya kubakolera.

Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,
    era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,
    ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,
    n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.
Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
    Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku.

Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,
    ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?
    Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe
    n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12 Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?
    Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

13 Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;
    buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 Ayi Mukama, onsuulidde ki?
    Onkwekedde ki amaaso go?

15 Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
    ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
    Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
    binsaanikiridde ddala.
18 Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
    nsigazza nzikiza yokka.