The Message

Psalm 137

11-3 Alongside Babylon’s rivers
    we sat on the banks; we cried and cried,
    remembering the good old days in Zion.
Alongside the quaking aspens
    we stacked our unplayed harps;
That’s where our captors demanded songs,
    sarcastic and mocking:
    “Sing us a happy Zion song!”

4-6 Oh, how could we ever sing God’s song
    in this wasteland?
If I ever forget you, Jerusalem,
    let my fingers wither and fall off like leaves.
Let my tongue swell and turn black
    if I fail to remember you,
If I fail, O dear Jerusalem,
    to honor you as my greatest.

7-9 God, remember those Edomites,
    and remember the ruin of Jerusalem,
That day they yelled out,
    “Wreck it, smash it to bits!”
And you, Babylonians—ravagers!
    A reward to whoever gets back at you
    for all you’ve done to us;
Yes, a reward to the one who grabs your babies
    and smashes their heads on the rocks!

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 137

1Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
    ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
Ne tuwanika ennanga zaffe
    ku miti egyali awo.
Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
    abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
    nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
    mu nsi eteri yaffe?
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
    omukono gwange ogwa ddyo gukale!
Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
    singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
    okusinga ebintu ebirala byonna.

Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.
Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
    n’ababetentera[b] ku lwazi.

Notas al pie

  1. 137:7 Nebukadduneeza bwe yazikiriza Yerusaalemi, bazzukulu ba Edomu baasanyuka okulaba ng’abalabe baabwe Abayisirayiri bazikiridde. Kino kyali kibi nnyo kubanga Abayisirayiri ne bazzukulu ba Edomu baaluganda. Bazzukulu ba Edomu bava mu Esawu
  2. 137:9 Okukakasa nga tewaba n’omu ku b’omu kibuga ekiwambiddwa asigalawo, abaakiwambanga baabetentanga emitwe gy’abaana abato ab’omu kibuga ekyo ku lwazi