The Message

Psalm 106

11-3 Hallelujah!
Thank God! And why?
    Because he’s good, because his love lasts.
But who on earth can do it—
    declaim God’s mighty acts, broadcast all his praises?
You’re one happy man when you do what’s right,
    one happy woman when you form the habit of justice.

4-5 Remember me, God, when you enjoy your people;
    include me when you save them;
I want to see your chosen succeed,
    celebrate with your celebrating nation,
    join the Hallelujahs of your pride and joy!

6-12 We’ve sinned a lot, both we and our parents;
    We’ve fallen short, hurt a lot of people.
After our parents left Egypt,
    they took your wonders for granted,
    forgot your great and wonderful love.
They were barely beyond the Red Sea
    when they defied the High God
    —the very place he saved them!
    —the place he revealed his amazing power!
He rebuked the Red Sea so that it dried up on the spot
    —he paraded them right through!
    —no one so much as got wet feet!
He saved them from a life of oppression,
    pried them loose from the grip of the enemy.
Then the waters flowed back on their oppressors;
    there wasn’t a single survivor.
Then they believed his words were true
    and broke out in songs of praise.

13-18 But it wasn’t long before they forgot the whole thing,
    wouldn’t wait to be told what to do.
They only cared about pleasing themselves in that desert,
    provoked God with their insistent demands.
He gave them exactly what they asked for—
    but along with it they got an empty heart.
One day in camp some grew jealous of Moses,
    also of Aaron, holy priest of God.
The ground opened and swallowed Dathan,
    then buried Abiram’s gang.
Fire flared against that rebel crew
    and torched them to a cinder.

19-22 They cast in metal a bull calf at Horeb
    and worshiped the statue they’d made.
They traded the Glory
    for a cheap piece of sculpture—a grass-chewing bull!
They forgot God, their very own Savior,
    who turned things around in Egypt,
Who created a world of wonders in the Land of Ham,
    who gave that stunning performance at the Red Sea.

23-27 Fed up, God decided to get rid of them—
    and except for Moses, his chosen, he would have.
But Moses stood in the gap and deflected God’s anger,
    prevented it from destroying them utterly.
They went on to reject the Blessed Land,
    didn’t believe a word of what God promised.
They found fault with the life they had
    and turned a deaf ear to God’s voice.
Exasperated, God swore
    that he’d lay them low in the desert,
Scattering their children hither and yon,
    strewing them all over the earth.

28-31 Then they linked up with Baal Peor,
    attending funeral banquets and eating idol food.
That made God so angry
    that a plague spread through their ranks;
Phinehas stood up and pled their case
    and the plague was stopped.
This was counted to his credit;
    his descendants will never forget it.

32-33 They angered God again at Meribah Springs;
    this time Moses got mixed up in their evil;
Because they defied God yet again,
    Moses exploded and lost his temper.

34-39 They didn’t wipe out those godless cultures
    as ordered by God;
Instead they intermarried with the heathen,
    and in time became just like them.
They worshiped their idols,
    were caught in the trap of idols.
They sacrificed their sons and daughters
    at the altars of demon gods.
They slit the throats of their babies,
    murdered their infant girls and boys.
They offered their babies to Canaan’s gods;
    the blood of their babies stained the land.
Their way of life stank to high heaven;
    they lived like whores.

40-43 And God was furious—a wildfire anger;
    he couldn’t stand even to look at his people.
He turned them over to the heathen
    so that the people who hated them ruled them.
Their enemies made life hard for them;
    they were tyrannized under that rule.
Over and over God rescued them, but they never learned—
    until finally their sins destroyed them.

44-46 Still, when God saw the trouble they were in
    and heard their cries for help,
He remembered his Covenant with them,
    and, immense with love, took them by the hand.
He poured out his mercy on them
    while their captors looked on, amazed.

47 Save us, God, our God!
    Gather us back out of exile
So we can give thanks to your holy name
    and join in the glory when you are praised!

48 Blessed be God, Israel’s God!
Bless now, bless always!
Oh! Let everyone say Amen!
Hallelujah!

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 106

1Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
Bakadde baffe
    tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
    bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
    n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 Yabawonya abalabe baabwe;
    n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
    ne wataba n’omu awona.
12 Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
    ne bayimba nga bamutendereza.

13 Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
    ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
    ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
    kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
    ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
    Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
    ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
    ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 Ekitiibwa kya Katonda
    ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 Ne beerabira Katonda eyabanunula,
    eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
    n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 N’agamba nti,
    Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
    n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24 Baanyooma eby’ensi ennungi,
    kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
    ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 Kyeyava yeerayirira
    nti alibazikiririza mu ddungu,
27 era nga n’abaana baabwe
    balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28 Baatandika okusinza Baali e Peoli;
    ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
    kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
    kawumpuli n’agenda.
31 Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
    emirembe gyonna.
32 Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
    ne baleetera Musa emitawaana;
33 kubanga baajeemera ebiragiro bye,
    ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34 Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
    nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.
37 Baawaayo batabani baabwe
    ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
    n’akyawa ezzadde lye.
41 N’abawaayo eri amawanga amalala,
    abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
    ne babatuntuza nnyo ddala.
43 Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
    naye obujeemu ne bubalemeramu,
    ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
    n’abakwatirwa ekisa;
45 ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
    okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 N’abaleetera okusaasirwa
    abo abaabawambanga.
47 Ayi Mukama Katonda,
    otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
    era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.