The Message

Nehemiah 1

11-2 The memoirs of Nehemiah son of Hacaliah.

It was the month of Kislev in the twentieth year. At the time I was in the palace complex at Susa. Hanani, one of my brothers, had just arrived from Judah with some fellow Jews. I asked them about the conditions among the Jews there who had survived the exile, and about Jerusalem.

They told me, “The exile survivors who are left there in the province are in bad shape. Conditions are appalling. The wall of Jerusalem is still rubble; the city gates are still cinders.”

When I heard this, I sat down and wept. I mourned for days, fasting and praying before the God-of-Heaven.

5-6 I said, “God, God-of-Heaven, the great and awesome God, loyal to his covenant and faithful to those who love him and obey his commands: Look at me, listen to me. Pay attention to this prayer of your servant that I’m praying day and night in intercession for your servants, the People of Israel, confessing the sins of the People of Israel. And I’m including myself, I and my ancestors, among those who have sinned against you.

7-9 “We’ve treated you like dirt: We haven’t done what you told us, haven’t followed your commands, and haven’t respected the decisions you gave to Moses your servant. All the same, remember the warning you posted to your servant Moses: ‘If you betray me, I’ll scatter you to the four winds, but if you come back to me and do what I tell you, I’ll gather up all these scattered peoples from wherever they ended up and put them back in the place I chose to mark with my Name.’

10-11 “Well, there they are—your servants, your people whom you so powerfully and impressively redeemed. O Master, listen to me, listen to your servant’s prayer—and yes, to all your servants who delight in honoring you—and make me successful today so that I get what I want from the king.”

I was cupbearer to the king.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Nekkemiya 1

Okusaba kwa Nekkemiya

1Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya:

Awo mu mwezi gwa Kisuleevu mu mwaka ogw’amakumi abiri[a] bwe nnali nga ndi mu lubiri mu kibuga ekikulu ekya Susani,[b] Kanani, omu ku baganda bange, n’ajja n’abamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu ky’Abayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi. Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza[c] bali mu kabi kanene ne mu nnaku nnyingi; bbugwe wa Yerusaalemi yamenyebwa, era ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro.” Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu. Ne njogera nti,

“Ayi Mukama Katonda w’eggulu, Katonda omukulu ow’entiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge. Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana n’ekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange n’ennyumba ya kitange mwe tuli. Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go n’ebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.

“Jjukira ebiragiro bye wawa omuddu wo Musa, ng’oyogera nti, ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga, naye bwe mulikyuka ne mukomawo gye ndi, ne mugondera amateeka gange, abantu bammwe abaawaŋŋangusibwa ne bwe banaabeeranga ku nkomerero y’eggulu, ndibakuŋŋaanyayo ne mbaleeta mu kifo kye neeroboza okubeerangamu Erinnya lyange.’

10 “Abo be baddu bo era be bantu bo be wanunula n’amaanyi go amangi era n’omukono gwo ogw’amaanyi. 11 Ayi Mukama, otege okutu eri okusaba kw’omuddu wo n’eri okusaba kw’abaddu bo abatya erinnya lyo. Omuddu wo omusobozese okulaba ekisa mu maaso g’omusajja ono.”

Ebiro ebyo nnali musenero wa kabaka.

Notas al pie

  1. 1:1 Bino byabaawo oluvannyuma lw’emyaka kyenda mu gumu (91), ng’abaawaŋŋangusibwa bakomyewo; nga mu mwaka 446 bc.
  2. 1:1 Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi.
  3. 1:3 Obwakabaka bwa Buperusi bwalina amasaza asatu. Essaza lya Yuda lyafugibwanga mu Samaliya.