The Message

James 1

1I, James, am a slave of God and the Master Jesus, writing to the twelve tribes scattered to Kingdom Come: Hello!

Faith Under Pressure

2-4 Consider it a sheer gift, friends, when tests and challenges come at you from all sides. You know that under pressure, your faith-life is forced into the open and shows its true colors. So don’t try to get out of anything prematurely. Let it do its work so you become mature and well-developed, not deficient in any way.

5-8 If you don’t know what you’re doing, pray to the Father. He loves to help. You’ll get his help, and won’t be condescended to when you ask for it. Ask boldly, believingly, without a second thought. People who “worry their prayers” are like wind-whipped waves. Don’t think you’re going to get anything from the Master that way, adrift at sea, keeping all your options open.

9-11 When down-and-outers get a break, cheer! And when the arrogant rich are brought down to size, cheer! Prosperity is as short-lived as a wildflower, so don’t ever count on it. You know that as soon as the sun rises, pouring down its scorching heat, the flower withers. Its petals wilt and, before you know it, that beautiful face is a barren stem. Well, that’s a picture of the “prosperous life.” At the very moment everyone is looking on in admiration, it fades away to nothing.

12 Anyone who meets a testing challenge head-on and manages to stick it out is mighty fortunate. For such persons loyally in love with God, the reward is life and more life.

13-15 Don’t let anyone under pressure to give in to evil say, “God is trying to trip me up.” God is impervious to evil, and puts evil in no one’s way. The temptation to give in to evil comes from us and only us. We have no one to blame but the leering, seducing flare-up of our own lust. Lust gets pregnant, and has a baby: sin! Sin grows up to adulthood, and becomes a real killer.

16-18 So, my very dear friends, don’t get thrown off course. Every desirable and beneficial gift comes out of heaven. The gifts are rivers of light cascading down from the Father of Light. There is nothing deceitful in God, nothing two-faced, nothing fickle. He brought us to life using the true Word, showing us off as the crown of all his creatures.

Act on What You Hear

19-21 Post this at all the intersections, dear friends: Lead with your ears, follow up with your tongue, and let anger straggle along in the rear. God’s righteousness doesn’t grow from human anger. So throw all spoiled virtue and cancerous evil in the garbage. In simple humility, let our gardener, God, landscape you with the Word, making a salvation-garden of your life.

22-24 Don’t fool yourself into thinking that you are a listener when you are anything but, letting the Word go in one ear and out the other. Act on what you hear! Those who hear and don’t act are like those who glance in the mirror, walk away, and two minutes later have no idea who they are, what they look like.

25 But whoever catches a glimpse of the revealed counsel of God—the free life!—even out of the corner of his eye, and sticks with it, is no distracted scatterbrain but a man or woman of action. That person will find delight and affirmation in the action.

26-27 Anyone who sets himself up as “religious” by talking a good game is self-deceived. This kind of religion is hot air and only hot air. Real religion, the kind that passes muster before God the Father, is this: Reach out to the homeless and loveless in their plight, and guard against corruption from the godless world.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Yakobo 1

Amagezi n’okukkiriza

1Nze Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, mpandiikira ebika ekkumi n’ebibiri ebyasaasaana, nga mbalamusa.

Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. Omulimu gw’okugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako. Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa. Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ng’ejjengo ery’oku nnyanja erisundibwa empewo. Omuntu ng’oyo bw’atasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna. Kubanga omuntu ow’emyoyo ebiri, buli gy’adda tanywererayo.

Obwavu n’obugagga

Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. 10 N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera. 11 Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye.

12 Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

13 Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. 14 Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. 15 Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

16 Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga. 17 Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala. 18 Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.

Okuwuliriza n’okukola

19 Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. 20 Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. 21 Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.

22 Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. 23 Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu; 24 bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye. 25 Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.

26 Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa. 27 Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.