The Message

2 Samuel 24

11-2 Once again God’s anger blazed out against Israel. He tested David by telling him, “Go and take a census of Israel and Judah.” So David gave orders to Joab and the army officers under him, “Canvass all the tribes of Israel, from Dan to Beersheba, and get a count of the population. I want to know the number.”

But Joab resisted the king: “May your God multiply people by the hundreds right before the eyes of my master the king, but why on earth would you do a thing like this?”

4-9 Nevertheless, the king insisted, and so Joab and the army officers left the king to take a census of Israel. They crossed the Jordan and began with Aroer and the town in the canyon of the Gadites near Jazer, proceeded through Gilead, passed Hermon, then on to Dan, but detoured Sidon. They covered Fort Tyre and all the Hivite and Canaanite cities, and finally reached the Negev of Judah at Beersheba. They canvassed the whole country and after nine months and twenty days arrived back in Jerusalem. Joab gave the results of the census to the king: 800,000 able-bodied fighting men in Israel; in Judah 500,000.

10 But when it was all done, David was overwhelmed with guilt because he had counted the people, replacing trust with statistics. And David prayed to God, “I have sinned badly in what I have just done. But now God forgive my guilt—I’ve been really stupid.”

11-12 When David got up the next morning, the word of God had already come to Gad the prophet, David’s spiritual advisor, “Go and give David this message: ‘God has spoken thus: There are three things I can do to you; choose one out of the three and I’ll see that it’s done.’”

13 Gad came to deliver the message: “Do you want three years of famine in the land, or three months of running from your enemies while they chase you down, or three days of an epidemic on the country? Think it over and make up your mind. What shall I tell the one who sent me?”

14 David told Gad, “They’re all terrible! But I’d rather be punished by God, whose mercy is great, than fall into human hands.”

15-16 So God let loose an epidemic from morning until suppertime. From Dan to Beersheba seventy thousand people died. But when the angel reached out over Jerusalem to destroy it, God felt the pain of the terror and told the angel who was spreading death among the people, “Enough’s enough! Pull back!”

The angel of God had just reached the threshing floor of Araunah the Jebusite. David looked up and saw the angel hovering between earth and sky, sword drawn and about to strike Jerusalem. David and the elders bowed in prayer and covered themselves with rough burlap.

17 When David saw the angel about to destroy the people, he prayed, “Please! I’m the one who sinned; I, the shepherd, did the wrong. But these sheep, what did they do wrong? Punish me and my family, not them.”

18-19 That same day Gad came to David and said, “Go and build an altar on the threshing floor of Araunah the Jebusite.” David did what Gad told him, what God commanded.

20-21 Araunah looked up and saw David and his men coming his way; he met them, bowing deeply, honoring the king and saying, “Why has my master the king come to see me?”

“To buy your threshing floor,” said David, “so I can build an altar to God here and put an end to this disaster.”

22-23 “Oh,” said Araunah, “let my master the king take and sacrifice whatever he wants. Look, here’s an ox for the burnt offering and threshing paddles and ox-yokes for fuel—Araunah gives it all to the king! And may God, your God, act in your favor.”

24-25 But the king said to Araunah, “No. I’ve got to buy it from you for a good price; I’m not going to offer God, my God, sacrifices that are no sacrifice.”

So David bought the threshing floor and the ox, paying out fifty shekels of silver. He built an altar to God there and sacrificed burnt offerings and peace offerings. God was moved by the prayers and that was the end of the disaster.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

2 Samwiri 24

Dawudi Abala Eggye

1Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”

Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”

Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”

Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.

Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri. Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni. Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi[a] n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.

Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi. Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano. 10 Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”

11 Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti, 12 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”

13 Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”

14 Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”

15 Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. 16 Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.

17 Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”

Dawudi Azimbira Mukama Ekyoto

18 Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro[b] lya Alawuna Omuyebusi.” 19 Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro. 20 Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.

21 Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”

22 Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku. 23 Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”

24 Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira[c]. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.”

Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga. 25 Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.

Notas al pie

  1. 24:7 Abakiivi n’Abakanani be baabeeranga mu nsi y’e Kanani, Abayisirayiri nga tebannagitwala.
  2. 24:18 Gguuliro Amagguuliro gaabeeranga waggulu ku busozi, empewo gye yabeeranga ennyingi.
  3. 24:24 Dawudi n’agula akasozi konna aka Moliya. Mu kifo ekyo mwe yazimba Yeekaalu ya Mukama, okumpi ennyo n’ekibuga kya Dawudi ku luuyi lw’obukiikakkono (1By 22:1; 2By 3:1).