Zekkaliya 9 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 9:1-17

19:1 Is 17:1Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki

era kirituuka e Ddamasiko.

Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri

batunuulidde Mukama,

29:2 a Yer 49:23 b Ez 28:1-19era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,

ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.

39:3 Yob 27:16; Ez 28:4Ttuulo kyezimbira ekigo

ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,

ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.

49:4 Is 23:1; Ez 26:3-5; 28:18Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,

alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,

era kiryokebwa omuliro.

5Asukulooni bino kiribiraba ne kitya;

ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi.

Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo;

Gaza aliggyibwako kabaka we,

ne Asukulooni tekiribaamu bantu.

6Abagwira balitwala Asudodi,

era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.

7Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke

n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge.

N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe,

balifuuka bakulembeze mu Yuda,

ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.

89:8 Is 52:1; 54:14Naye ndirwanirira ennyumba yange

eri eggye eddumbaganyi,

so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange

kubanga kaakano mbalabirira.

99:9 a Is 9:6-7; 43:3-11; Yer 23:5-6; Zef 3:14-15; Zek 2:10 b Mat 21:5*; Yk 12:15*Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:

leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;

laba, kabaka wo ajja gy’oli;

mutuukirivu era muwanguzi;

muwombeefu era yeebagadde endogoyi,

endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.

109:10 a Kos 1:7; 2:18; Mi 4:3; 5:10; Zek 10:4 b Zab 72:8Efulayimu ndimuggyako amagaali,

ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi,

n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa

era alireeta emirembe mu mawanga,

n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala

era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.

119:11 a Kuv 24:8 b Is 42:7Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe,

ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.

129:12 Yo 3:16Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi;

nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.

139:13 a Is 49:2 b Yo 3:6 c Yer 51:20Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale

ngujjuze Efulayimu.

Ndiyimusa batabani ba Sayuuni,

balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani,

mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.

149:14 a Is 31:5 b Zab 18:14; Kbk 3:11 c Is 21:1; 66:15Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe,

akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu.

Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere,

n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.

159:15 a Is 37:35; Zek 12:8 b Kuv 27:2Mukama ow’Eggye alibakuuma.

Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo,

balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu.

Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.

169:16 Is 62:3; Yer 31:11Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be

ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze.

Balitangalijja mu nsi ye,

ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.

17Nga baliba balungi era abatuukirivu!

Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza,

n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.