Zekkaliya 8 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 8:1-23

Mukama Asuubiza Okuzzaawo Yerusaalemi

1Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:

2Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”

38:3 a Zek 1:16 b Zek 2:10Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”

48:4 Is 65:20Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde. 58:5 Yer 30:20; 31:13N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”

68:6 a Zab 118:23; 126:1-3 b Yer 32:17, 27Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

78:7 Zab 107:3; Is 11:11; 43:5Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba: 88:8 a Zek 10:10 b Ez 11:19-20; 36:28; Zek 2:11Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”

98:9 a Kag 2:4 b Ezr 5:1Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe. 108:10 Kag 1:6Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we. 118:11 Is 12:1Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

128:12 a Yo 2:22 b Zab 67:6 c Lub 27:28 d Ob 17“Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe. 138:13 a Yer 42:18 b Lub 12:2Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”

148:14 Yer 31:28Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira, 158:15 nny 13; Yer 29:11bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya. 168:16 a Zab 15:2; Bef 4:25 b Zek 7:9Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe; 178:17 a Nge 3:29 b Nge 6:16-19tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.

18Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:

198:19 a Yer 39:2 b Yer 52:12 c 2Bk 25:25 d Yer 52:4 e Zab 30:11 f nny 16Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”

20Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi; 218:21 Zek 7:2era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’ 228:22 Zab 117:1; Is 60:3; Zek 2:11Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”

238:23 Is 45:14; 1Ko 14:25Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”

Bibelen på hverdagsdansk

Zakariasʼ Bog 8:1-23

Herren lover at velsigne Jerusalem

1Dernæst sagde Herren til mig: 2„Jerusalem har en særlig plads i mit hjerte, og jeg er vred på dem, der så grusomt raserede byen. 3Jeg vil vende tilbage til Zion og bosætte mig der, og Jerusalem skal kaldes ‚Sandhedens og retfærdighedens by’, og tempelbjerget ‚Den Almægtiges hellige bjerg’.

4På Jerusalems torve skal der atter sidde gamle kvinder og mænd, som bruger stok på grund af deres høje alder, 5og gaderne skal vrimle af legende drenge og piger. 6Jeg ved, at det lyder som en umulighed for den rest, som er tilbage af Judas folk, men det er ikke umuligt for mig, siger Herren. 7Jeg vil samle mit folk fra øst og fra vest 8og føre dem hjem til Jerusalem. De skal være mit folk, og jeg vil være deres Gud, så de kan opleve sandhed og retfærdighed.

9Vær ved godt mod og fortsæt arbejdet med at genopbygge templet. I har hørt Herrens opmuntrende ord gennem profeterne både nu, og dengang genopbygningen af templet skulle til at begynde. 10Før I begyndte, var der stor fattigdom, og ingen kunne være i fred for fjenderne, ja, alle var fjendtlige over for hinanden. 11Men nu bliver det anderledes, siger Herren, den Almægtige. 12Nu skaber jeg fred og fremgang. Vinstokkene skal igen bære frugt, jorden skal igen frembringe korn, og himlen give regn. Sådan vil jeg velsigne den rest af mit folk, som er tilbage. 13Både Judas og Israels land har været et eksempel til skræk og advarsel for andre folkeslag, men jeg vil frelse dem, så de i stedet kan blive til velsignelse. Vær derfor ikke bange, men tag mod til jer. 14-15Ligesom jeg før i tiden satte mig for at straffe jeres forfædre, når de vækkede min vrede, og jeg ikke ændrede mening, sådan har jeg nu sat mig for at velsigne Jerusalem og Judas folk. Vær derfor ikke bange. 16Men I skal tale sandhed og lade retfærdigheden råde i jeres retssager, så der bliver fred. 17Læg ikke ondskabsfulde planer imod hinanden og sværg ikke falsk, for den slags hader jeg, siger Herren.

18-19Hvad angår fastedagene i den fjerde, femte, syvende og tiende måned, så skal de blive til glædesfester. I skal sætte en ære i at elske sandheden og holde fred med hinanden. 20Engang vil folk fra hele verden komme til jer, siger Herren, den Almægtige. 21De vil sige til hinanden: ‚Kom, lad os rejse til Jerusalem og søge Herren, så han kan velsigne os! Jeg er parat til at tage af sted!’ 22Selv mennesker fra de store nationer vil komme til Jerusalem for at søge Herren og bede om hans velsignelse. 23Til den tid vil ti mennesker fra alverdens nationer flokkes om en enkelt jøde, tage ham i ærmet og sige: ‚Lad os få lov at tage med dig, for vi har hørt, at Gud er med jer!’ ”