Zekkaliya 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 4:1-14

Okwolesebwa kwa Nnabbi ku Kikondo ky’Ettaala ekya Zaabu n’Emiti Emizeeyituuni Ebiri

14:1 a Dan 8:18 b Yer 31:26Awo malayika eyali ayogera nange n’akomawo, n’anzuukusa ng’omuntu bw’azuukusibwa mu tulo. 24:2 a Yer 1:13 b Kuv 25:31; Kub 1:12 c Kub 4:5N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”

Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo. 34:3 nny 11; Kub 11:4Era waliwo emiti emizeeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw’akabakuli, n’omulala ku mukono ogwa kkono.”

4Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”

54:5 Zek 1:9Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?”

Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”

64:6 a Ezr 5:2 b Is 11:2-4; Kos 1:7Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

74:7 a Yer 51:25 b Zab 118:22“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”

8Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, 94:9 a Ezr 3:11 b Ezr 3:8; 6:15; Zek 6:12 c Zek 2:9“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.

104:10 a Kag 2:3 b Zek 3:9; Kub 5:6“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”

114:11 nny 3; Kub 11:4Ne ndyoka mubuuza nti, “Emizeeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono ogw’ekikondo ky’ettabaaza, gitegeeza ki?”

12Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri ag’emizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”

13N’anziramu nti, “Tobimanyi?”

Ne njogera nti, “Nedda, mukama wange.”

144:14 Kuv 29:7; 40:15; Dan 9:24-26; Zek 3:1-7Awo n’addamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama ow’ensi yonna.”