Zekkaliya 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 14:1-21

Yerusaalemi enunulibwa Mukama

114:1 Is 13:9; Mal 4:1Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga.

214:2 Is 13:6; Zek 13:8Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.

314:3 Zek 9:14-15Awo Mukama alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo. 414:4 Ez 11:23Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu eky’olusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo. 514:5 a Am 1:1 b Is 29:6; 66:15-16 c Mat 16:27; 25:31Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.

614:6 Is 13:10; Yer 4:23Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti. 714:7 a Yer 30:7 b Kub 21:23-25; 22:5 c Is 30:26Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.

814:8 a Ez 47:1-12; Yk 7:38; Kub 22:1-2 b Yo 2:20Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

Yuda Kabaka w’Ensi ow’Oku Ntikko

914:9 a Ma 6:4; Is 45:24; Kub 11:15 b Bef 4:5-6Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.

1014:10 a 1Bk 15:22 b Yer 30:18; Am 9:11 c Zek 12:6Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 1114:11 Ez 34:25-28Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu.

1214:12 Lv 26:16; Ma 28:22Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa. 1314:13 Zek 11:6Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana. 1414:14 a Zek 12:2 b Is 23:18Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa. 1514:15 nny 12Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.

1614:16 Is 60:6-9Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira. 1714:17 Yer 14:4; Am 4:7Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba. 1814:18 nny 12Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira. 19Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.

2014:20 a Ez 46:20 b Zek 9:15Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 2114:21 a Bar 14:6-7; 1Ko 10:31 b Nek 8:10 c Zek 9:8 d Ez 44:9Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.