Zekkaliya 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 13:1-9

113:1 a Yer 17:13 b Zab 51:2; Beb 9:14“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.

213:2 a Kuv 23:13; Ez 36:25; Kos 2:17 b 1Bk 22:22; Yer 23:14-15“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 313:3 Ma 13:6-11; 18:20; Yer 23:34; Ez 14:9Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

413:4 a Yer 6:15; Mi 3:6-7 b Mat 3:4 c 2Bk 1:8; Is 20:2“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu. 513:5 Am 7:14Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’ 6Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”

Isirayiri Ebonerezebwa

713:7 a Yer 47:6 b Is 40:11; 53:4; Ez 37:24 c Mat 26:31*; Mak 14:27*“Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange,

olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,”

bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Kuba omusumba

endiga zisaasaane

nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.

813:8 Ez 5:2-4, 12Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama,

“bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo,

naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.

913:9 a Mal 3:2 b Is 48:10; 1Pe 1:6-7 c Zab 50:15 d Zek 10:6 e Yer 30:22 f Yer 29:12Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,

ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa

mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.

Balikoowoola erinnya lyange

nange ndibaanukula.

Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’

era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”