Zekkaliya 11 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 11:1-17

111:1 Ez 31:3Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,

omuliro gwokye emivule gyo.

211:2 Is 32:19Kaaba ggwe omuberosi, kubanga emivule gigudde!

Emiti emirungi ennyo gyonoonese.

Mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani,

kubanga ekibira ekikwafu kigudde.

311:3 Yer 2:15; 50:44Wuliriza ebiwoobe by’abasumba,

amalundiro gaabwe amalungi gazikirizibbwa.

Wuliriza okuwuluguma kw’empologoma.

Omuddo omulungi oguli ku Yoludaani guzikirizibbwa.

Abasumba Ababiri

4Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wange nti, “Lunda endiga zigejje ezinaatwalibwa okuttibwa. 511:5 Yer 50:7; Ez 34:2-3Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa. 611:6 a Zek 14:13 b Is 9:19-21; Yer 13:14; Mi 5:8; 7:2-6Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”

7Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga. 8Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ng’ebakyaye era nabo nga bankyaye. 911:9 Yer 15:2; 43:11Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”

1011:10 a nny 7 b Zab 89:39; Yer 14:21Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze n’abantu bonna. 11Endagaano n’agikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi b’endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.

1211:12 Kuv 21:32; Mat 26:15Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.

1311:13 Mat 27:9-10*; Bik 1:18-19Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.

14Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye. 15Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.

1711:17 a Yer 23:1 b Ez 30:21-22 c Yer 23:1“ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa

agayaalirira ekisibo!

Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo!

Omukono gwe gukalire ddala,

n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒迦利亚书 11:1-17

羊群必遭杀戮

1黎巴嫩啊,打开你的门吧,

好让火焰吞噬你的香柏树。

2松树啊,哀号吧,

因为香柏树已经倒下,

挺拔的树木已被毁坏。

巴珊的橡树啊,哀号吧,

因为茂密的树林已被砍倒。

3听啊,牧人在哀号,

因为他们肥美的草场已被毁坏。

听啊,狮子在吼叫,

因为约旦河畔的丛林已被毁坏。

4我的上帝耶和华说:“你去牧养这群待宰的羊吧。 5买羊宰羊的不受惩罚,卖羊的说,‘耶和华当受称颂!我发财了。’它们的牧人不怜悯它们。 6因此,我不再怜悯这地方的居民,我要使他们落在邻人及其君王手中,任这地方被摧毁,必不从敌人手中拯救他们。这是耶和华说的。”

7于是,我牧养这群最困苦的待宰之羊。我拿了两根杖,一根叫“恩惠”,一根叫“联合”,开始牧养羊群。 8我在一个月之内除掉了三个牧人。

然而,我厌烦羊群,他们也厌恶我。 9于是我说:“我不再牧养你们了。要死的就死吧,要灭亡的就灭亡吧,让剩下的互相吞吃吧。” 10然后,我拿起那根叫“恩惠”的杖,把它折断,以废除我与万民所立的约。 11约就在当天废除了,那些注视着我的困苦羊便知道这是上帝的话。

12我对他们说:“你们若认为好,就给我工钱,不然就算了。”于是,他们给了我三十块银子作工钱。 13耶和华对我说:“把这一大笔钱丢给窑户吧,这就是我在他们眼中的价值!”我便把三十块银子丢给圣殿中的窑户。 14我又把那根叫“联合”的杖折断,以断开犹大以色列之间的手足之情。

15耶和华又对我说:“你再拿起愚昧牧人的器具, 16因为我要使一位牧人在地上兴起,他不照顾丧亡的,不寻找失散的,不医治受伤的,不牧养健壮的,反而吃肥羊的肉,撕掉它们的蹄子。

17“丢弃羊群的无用牧人有祸了!

愿刀砍在他的臂膀和右眼上!

愿他的臂膀彻底枯槁,

他的右眼完全失明!”