Mukama Alirabirira Yuda
1Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;
kubanga Mukama y’akola ebire
enkuba n’etonnya,
olwo buli muntu n’afuna ebirime.
210:2 a Ez 21:21 b Ez 34:5; Kos 3:4; Mat 9:36Kubanga bakatonda abalala
n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;
ne baloota ebirooto eby’obulimba,
ne bagumya abantu eby’obulimba.
Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,
nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.
310:3 Yer 25:34“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba
era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,
kubanga Mukama ow’Eggye ajja
kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,
era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
410:4 a Is 22:23 b Zek 9:10Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,
muveemu n’enkondo enyweza weema,
muveemu n’omutego ogw’akasaale
era muveemu na buli mufuzi yenna.
510:5 a 2Sa 22:43 b Am 2:15; Kag 2:22Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo
abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.
Kubanga Mukama ali nabo,
balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.
610:6 a Zek 8:7-8 b Zek 13:9“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
nga be sseegaanangako
era ndibawulira
kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
710:7 Zek 9:15Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,
emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.
Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,
omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
810:8 a Is 5:26 b Yer 33:22; Ez 36:11Ddala ndibawonya
ne mbakuŋŋaanya.
Ddala ndibanunula,
baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.
910:9 Ez 6:9Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,
naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.
Bo n’abaana baabwe baliba balamu
era ne bakomawo gye ndi.
1010:10 a Is 11:11 b Yer 50:19 c Is 49:19Ndibakomyawo okuva mu Misiri,
mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.
Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni
ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
1110:11 a Is 19:5-7; 51:10 b Zef 2:13 c Ez 30:13Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;
ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,
n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.
Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu
n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
1210:12 Mi 4:5Ndibafuula ba maanyi mu Mukama
era nabo balitambulira mu linnya lyange,”
bw’ayogera Mukama.