Zeffaniya 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zeffaniya 1:1-18

11:1 2Bk 22:1; 2By 34:1–35:25Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda

21:2 Lub 6:7“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.

31:3 a Yer 4:25 b Kos 4:3“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;

ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga

n’ebyennyanja;

ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;

bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”

bw’ayogera Mukama.

41:4 a Yer 6:12 b Mi 5:13 c Kos 10:5Ndigololera ku Yuda omukono gwange,

era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;

era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,

bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,

51:5 Yer 5:7abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu

ku nnyumba waggulu,

ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,

ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,

61:6 a Is 1:4; Yer 2:13 b Is 9:13 c Kos 7:7abo abadda emabega obutagoberera Mukama,

wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.

71:7 a Kbk 2:20; Zek 2:13 b nny 14; Is 13:6 c Is 34:6; Yer 46:10Siriikirira awali Mukama Katonda,

kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.

Mukama ategese ssaddaaka,

era atukuzizza abagenyi be.

81:8 a Is 24:21 b Yer 39:6Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,

ndibonereza abakungu

n’abaana ba Kabaka,

n’abo bonna abambadde

ebyambalo ebitasaana.

91:9 Am 3:10Awo ku lunaku olwo ndibonereza

abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,

n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe

ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.

101:10 2By 33:14Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,

eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,

okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,

n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.

111:11 a Yak 5:1 b Kos 9:6Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;

abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,

n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.

121:12 a Am 6:1 b Yer 48:11 c Ez 8:12Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,

mbonereze abo bonna abalagajjavu

abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,

abalowooza nti Mukama

talibaako ne ky’akolawo.

131:13 a Yer 15:13 b Ma 28:30, 39; Am 5:11; Mi 6:15Obugagga bwabwe bulinyagibwa,

n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.

Ne bwe balizimba ennyumba

tebalizituulamu,

era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo

tebalinywa wayini wamu.

Olunaku lwa Mukama Olukulu

141:14 a nny 7; Yo 1:15 b Ez 7:7Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;

ddala lunaatera okutuuka.

Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,

n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.

151:15 Is 22:5; Yo 2:2Olunaku olwo lunaku lwa busungu,

lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,

lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,

olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,

olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;

161:16 a Yer 4:19 b Is 2:15olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo

ku bibuga ebiriko ebigo

n’eri eminaala emigulumivu.

171:17 a Is 59:10 b Zab 79:3 c Yer 9:22Ndireeta, obuyinike ku bantu,

batambule ng’abazibe b’amaaso,

kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,

omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,

n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.

181:18 a Ez 7:19 b nny 2-3; Zef 3:8 c Lub 6:7Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe

tebiriyinza kubataasa

ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.

Ensi yonna erizikirizibwa

omuliro gw’obuggya bwe,

era alimalirawo ddala

abo bonna abali mu nsi.