Zabbuli 98 – LCB & CST

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 98:1-9

Zabbuli 98

Zabbuli.

198:1 a Zab 96:1 b Zab 96:3 c Kuv 15:6 d Is 52:10Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,

kubanga akoze eby’ekitalo.

Omukono gwe ogwa ddyo,

era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.

298:2 Is 52:10Mukama ayolesezza obulokozi bwe,

era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.

398:3 Luk 1:54Ajjukidde okwagala kwe okutakoma

n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.

Enkomerero z’ensi yonna zirabye

obulokozi bwa Katonda waffe.

498:4 Is 44:23Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;

muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.

598:5 a Zab 92:3 b Is 51:3Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;

n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,

698:6 a Kbl 10:10 b Zab 47:7n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.

Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

798:7 Zab 24:1Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,

n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.

898:8 Is 55:12Emigga gikube mu ngalo

n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;

998:9 Zab 96:10byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,

kubanga ajja okulamula ensi.

Aliramula ensi mu butuukirivu;

aliramula amawanga mu bwenkanya.

Nueva Versión Internacional (Castilian)

Salmo 98:1-9

Salmo 98

Salmo.

1Cantad al Señor un cántico nuevo,

porque ha hecho maravillas.

Su diestra, su santo brazo,

ha alcanzado la victoria.

2El Señor ha hecho gala de su triunfo;

ha mostrado su justicia a las naciones.

3Se ha acordado de su amor y de su fidelidad

por el pueblo de Israel;

¡todos los confines de la tierra son testigos

de la salvación de nuestro Dios!

4¡Aclamad alegres al Señor, habitantes de toda la tierra!

¡Prorrumpid en alegres cánticos y salmos!

5¡Cantad salmos al Señor al son del arpa,

al son del arpa y de coros melodiosos!

6¡Aclamad alegres al Señor, el Rey,

al son de clarines y trompetas!

7¡Brame el mar y todo lo que él contiene;

el mundo y todos sus habitantes!

8¡Batan palmas los ríos,

y canten jubilosos todos los montes!

9Canten delante del Señor,

que ya viene a juzgar la tierra.

Y juzgará al mundo con justicia,

a los pueblos con equidad.