Zabbuli 97 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 97:1-12

Zabbuli 97

197:1 a Zab 96:10 b Zab 96:11Mukama afuga; ensi esanyuke,

n’embalama eziri ewala zijaguze.

297:2 a Kuv 19:9; Zab 18:11 b Zab 89:14Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;

obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.

397:3 a Dan 7:10 b Kbk 3:5 c Zab 18:8Omuliro gumukulembera

ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.

497:4 Zab 104:32Okumyansa kwe kumulisa ensi;

ensi n’ekulaba n’ekankana.

597:5 a Zab 46:2, 6; Mi 1:4 b Yos 3:11Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,

mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.

697:6 a Zab 50:6 b Zab 19:1Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;

n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

797:7 a Lv 26:1 b Yer 10:14 c Beb 1:6Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,

abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.

Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

897:8 Zab 48:11Sayuuni akiwulira n’asanyuka,

n’ebyalo bya Yuda bijaguza;

kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.

997:9 a Zab 83:18; 95:3 b Kuv 18:11Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;

ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.

1097:10 a Zab 34:14; Am 5:15; Bar 12:9 b Nge 2:8 c Dan 3:28 d Zab 37:40; Yer 15:21Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,

akuuma obulamu bw’abamwesiga,

n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.

1197:11 Yob 22:28Omusana gwe gwakira abatuukirivu,

n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.

1297:12 Zab 30:4Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,

era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.