Zabbuli 96 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 96:1-13

Zabbuli 96

196:1 1By 16:23Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;

muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.

296:2 Zab 71:15Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,

mulangirire obulokozi bwe buli lukya.

3Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,

eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

496:4 a Zab 18:3; 145:3 b Zab 89:7 c Zab 95:3Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;

asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.

596:5 Zab 115:15Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;

naye Mukama ye yakola eggulu.

696:6 Zab 29:1Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;

amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

796:7 a Zab 29:1 b Zab 22:27Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;

mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.

896:8 Zab 45:12; 72:10Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;

muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.

996:9 a Zab 29:2 b Zab 114:7 c Zab 33:8Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.

Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.

1096:10 a Zab 97:1 b Zab 93:1 c Zab 67:4Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.

Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;

Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

1196:11 Zab 97:1; 98:7; Is 49:13Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;

ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.

1296:12 a Is 44:23 b Zab 65:13Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;

n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.

1396:13 Kub 19:11Kubanga Mukama ajja;

ajja okusalira ensi omusango.

Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,

n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Забур 96:1-12

Песнь 96

1Вечный царствует!

Пусть ликует земля

и возрадуются многочисленные острова!

2Тучи и тьма вокруг Него;

на праведности и правосудии основан Его престол.

3Пламя идёт перед Ним

и сжигает Его врагов вокруг.

4Молнии Его освещают мир,

земля видит и трепещет.

5Холмы тают, подобно воску, при виде Вечного,

при виде Владыки всей земли.

6Небеса возвещают о Его праведности,

и все народы видят Его славу.

7Устыдитесь, все, кто служит истуканам,

хвалится идолами.

Поклонитесь Ему, все боги!

8Сион услышал и обрадовался,

города Иудеи возликовали

о Твоих судах, Вечный.

9Ведь Ты, Вечный, превыше всей земли,

превознесён высоко над всеми богами.

10Кто любит Вечного, пусть ненавидит зло!

Он хранит души верных Ему

и избавляет их от рук нечестивых.

11Свет сияет на праведника,

и радость у правых сердцем.

12Радуйтесь, праведные, о Вечном,

возносите хвалу, вспоминая о Его святости.