Zabbuli 95 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 95:1-11

Zabbuli 95

195:1 a Zab 81:1 b 2Sa 22:47Mujje tuyimbire Mukama;

tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.

295:2 a Mi 6:6 b Zab 81:2; Bef 5:19Tujje mu maaso ge n’okwebaza;

tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

395:3 a Zab 48:1; 145:3 b Zab 96:4; 97:9Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;

era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.

4Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;

n’entikko z’ensozi nazo zize.

595:5 Lub 1:9; Zab 146:6Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;

n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

695:6 a Baf 2:10 b 2By 6:13 c Zab 100:3; 149:2; Is 17:7; Dan 6:10-11; Kos 8:14Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;

tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.

795:7 Zab 74:1; 79:13Kubanga ye Katonda waffe,

naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,

era tuli ndiga ze z’alabirira.

Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,

895:8 Kuv 17:7“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba95:8 Meriba kitegeeza okwemulugunya,

ne ku lunaku luli e Maasa95:8 Maasa kitegeeza kugezesa mu ddungu;

995:9 Kbl 14:22; Zab 78:18; 1Ko 10:9bajjajjammwe gye bangezesa;

newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.

1095:10 Bik 7:36; Beb 3:17Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;

ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,

era tebamanyi makubo gange.’

1195:11 a Kbl 14:23 b Ma 1:35; Beb 4:3*Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,

‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”