Zabbuli 93 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 93:1-5

Zabbuli 93

193:1 a Zab 97:1 b Zab 104:1 c Zab 65:6 d Zab 96:10Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.

Mukama ayambadde ekitiibwa

era yeesibye amaanyi.

Ensi yanywezebwa;

teyinza kunyeenyezebwa.

293:2 Zab 45:6Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.

Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

393:3 Zab 96:11Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;

ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,

n’amazzi g’ennyanja gayira.

493:4 Zab 65:7Mukama, Ali Waggulu Ennyo,

oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;

oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

593:5 Zab 29:2Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,

n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,

ennaku zonna.