Zabbuli 89 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 89:1-52

Zabbuli 89

Endagaano ya Katonda ne Dawudi.

189:1 a Zab 59:16; 101:1 b Zab 36:5; 40:10Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.

Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.

289:2 Zab 36:5Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;

n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.

3Nakola endagaano n’omulonde wange;

nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,

489:4 2Sa 7:12-16; 1Bk 8:16; Zab 132:11-12; Is 9:7; Luk 1:33“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,

era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”

589:5 Zab 19:1Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,

Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.

689:6 Zab 113:5Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?

Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?

789:7 Zab 47:2Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;

era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.

889:8 Zab 71:19Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?

Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.

989:9 Zab 65:7Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;

amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.

1089:10 a Zab 87:4 b Zab 68:1Lakabu wamubetentera ddala;

abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.

1189:11 a 1By 29:11; Zab 24:1 b Lub 1:1Eggulu liryo, n’ensi yiyo;

ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.

1289:12 a Yos 19:22 b Ma 3:8; Yos 12:1 c Zab 98:8Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;

ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.

13Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,

omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

1489:14 Zab 97:2Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.

Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.

1589:15 Zab 44:3Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;

Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.

1689:16 Zab 105:3Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,

n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.

1789:17 Zab 75:10; 92:10; 148:14Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.

Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.

1889:18 Zab 47:9Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,

Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

19Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo

omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;

ngulumizizza omuvubuka

okuva mu bantu abaabulijjo.

2089:20 a Bik 13:22 b Zab 78:70 c 1Sa 16:1, 12Nalaba Dawudi, omuweereza wange;

ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.

2189:21 Zab 18:35Nnaamukulemberanga,

n’omukono gwange gunaamunywezanga.

2289:22 2Sa 7:10Tewaliba mulabe we alimuwangula,

so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.

2389:23 a Zab 18:40 b 2Sa 7:9Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,

n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.

2489:24 2Sa 7:15Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,

ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.

2589:25 Zab 72:8Alifuga okuva ku migga

okutuuka ku nnyanja ennene.89:25 Ennyanja eyogerwako wano ye ya Meditereniyaani, n’emigga gya Fulaati n’amatabi gaayo. Eyo ye yali ensalo ey’ensi eyasuubizibwa Dawudi ne Sulemaani.

2689:26 a 2Sa 7:14 b 2Sa 22:47Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,

ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.

2789:27 a Bak 1:18 b Kbl 24:7 c Kub 1:5; 19:16Ndimufuula omwana wange omubereberye,

era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.

2889:28 nny 33-34; Is 55:3Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;

n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.

2989:29 nny 4, 36; Ma 11:21; Yer 33:17Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,

n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.

30Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,

ne batagoberera biragiro byange;

31bwe banaamenyanga ebiragiro byange,

ne batagondera mateeka gange,

3289:32 2Sa 7:14ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,

ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.

3389:33 2Sa 7:15Naye ssirirekayo kumwagala,

wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.

3489:34 Kbl 23:19Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,

wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.

35Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,

nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”

36Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;

n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.

37Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,

ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.

3889:38 Ma 32:19; 1By 28:9; Zab 44:9Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,

omukyaye era omunyiigidde.

3989:39 Kgb 5:16Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,

n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.

4089:40 a Zab 80:12 b Kgb 2:2Wamenyaamenya bbugwe we yenna,

n’oggyawo n’ebigo bye.

4189:41 Zab 44:13Abatambuze baanyaga ebintu bye;

n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.

4289:42 Zab 13:2; 80:6Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,

n’osanyusa abalabe be bonna.

4389:43 Zab 44:10Wakyusa ekitala kye

n’otomuyamba mu lutalo.

44Ekitiibwa kye wakikomya;

entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.

4589:45 Zab 44:15; 109:29Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,

n’omuswaza.

4689:46 Zab 79:5Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna?

Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?

4789:47 Yob 7:7; Zab 39:5Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.

Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!

4889:48 Zab 22:29; 49:9Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa

n’awangula amaanyi g’emagombe?

49Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,

kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?

5089:50 Zab 69:19Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,

engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;

5189:51 Zab 74:10abalabe bo banvuma, Ayi Mukama;

ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.

5289:52 Zab 41:13; 72:19Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!

Amiina era Amiina!