Zabbuli 87 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 87:1-7

Zabbuli 87

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

1Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.

287:2 Zab 78:68Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni

okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

387:3 Zab 46:4; Is 60:1Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,

ggwe ekibuga kya Katonda.

487:4 a Yob 9:13 b Zab 45:12 c Is 19:25“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,

ne Babulooni;

era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo

ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”

5Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,

“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”

n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.

687:6 Zab 69:28; Is 4:3; Ez 13:9Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,

omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

787:7 a Zab 149:3 b Zab 36:9Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,

“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”