Zabbuli 86 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 86:1-17

Zabbuli 86

Okusaba kwa Dawudi.

186:1 Zab 17:6Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,

kubanga ndi mwavu atalina kintu.

286:2 Zab 25:2; 31:14Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.

Katonda wange, ondokole

nze omuddu wo akwesiga.

386:3 a Zab 4:1; 57:1 b Zab 88:9Onsaasire, Ayi Mukama,

kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.

486:4 Zab 25:1; 143:8Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;

kubanga omwoyo gwange

nguyimusa eyo gy’oli.

586:5 Kuv 34:6; Nek 9:17; Zab 103:8; 145:8; Yo 2:13; Yon 4:2Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;

n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.

6Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;

owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.

786:7 Zab 50:15Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;

kubanga ononnyanukulanga.

886:8 Kuv 15:11; Ma 3:24; Zab 89:6Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;

era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.

986:9 a Zab 66:4; Kub 15:4 b Is 43:7Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda

ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;

era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.

1086:10 a Zab 72:18 b Ma 6:4; Mak 12:29; 1Ko 8:4Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;

ggwe wekka ggwe Katonda.

1186:11 a Zab 25:5 b Yer 32:39Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,

ntambulirenga mu mazima go;

ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,

ntyenga erinnya lyo.

12Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;

erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.

13Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;

wawonya omwoyo gwange amagombe.

1486:14 Zab 54:3Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,

ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,

be bantu abatakufiirako ddala.

1586:15 a Zab 103:8 b Kuv 34:6; Nek 9:17; Yo 2:13Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,

olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.

1686:16 Zab 116:16Onkyukire, onsaasire,

ompe amaanyi go nze omuweereza wo;

nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.

17Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,

abalabe bange bakalabe baswale;

kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.