Zabbuli 85 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 85:1-13

Zabbuli 85

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

185:1 Zab 14:7; Yer 30:18; Ez 39:25Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;

Yakobo omuddizza ebibye.

285:2 a Kbl 14:19 b Zab 78:38Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,

n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.

385:3 a Zab 106:23 b Kuv 32:12; Ma 13:17; Zab 78:38; Yon 3:9Ekiruyi kyo kyonna okirese,

n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.

485:4 Zab 80:3, 7Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,

oleke okutusunguwalira.

585:5 Zab 79:5Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?

Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?

685:6 Zab 80:18; Kbk 3:2Tolituzaamu ndasi,

abantu bo basanyukirenga mu ggwe?

7Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,

era otuwe obulokozi bwo.

885:8 Zek 9:10Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;

asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;

naye tebaddayo mu byonoono byabwe.

985:9 a Is 46:13 b Zek 2:5Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,

ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.

1085:10 a Zab 89:14; Nge 3:3 b Zab 72:2-3; Is 32:17Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;

obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.

1185:11 Is 45:8Obwesigwa bulose mu nsi,

n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.

1285:12 a Zab 84:11; Yak 1:17 b Lv 26:4; Zab 67:6; Zek 8:12Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,

n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.

13Obutuukirivu bunaamukulemberanga,

era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.