Zabbuli 83 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 83:1-18

Zabbuli 83

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

183:1 Zab 28:1; 35:22Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.

Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.

283:2 a Zab 2:1; Is 17:12 b Bal 8:28; Zab 81:15Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;

abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.

383:3 Zab 31:13Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;

basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.

483:4 a Es 3:6 b Yer 11:19Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,

n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

583:5 Zab 2:2Basala olukwe n’omwoyo gumu;

beegasse wamu bakulwanyise.

683:6 a Zab 137:7 b 2By 20:1 c Lub 25:16Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,

n’eza Mowaabu, n’Abakagale;

783:7 a Yos 13:5 b Ez 27:3Gebali ne Amoni, ne Amaleki,

n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.

883:8 Ma 2:9Era ne Asiriya yeegasse nabo,

okuyamba bazzukulu ba Lutti.

983:9 a Bal 7:1-23 b Bal 4:23-24Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,

era nga bwe wakola Sisera ne Yabini83:9 Yabini yali kabaka w’Abakanani, ate nga Sisera mutabani we. Yawangulibwa Debola ku mugga Kisoni,

1083:10 Zef 1:17abaazikiririra mu Endoli

ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.

1183:11 a Bal 7:25 b Bal 8:12, 21Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,83:11 Olebu ne Zeebu baali bakabaka b’Abamidiyaani, Gidyoni be yawangula

n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,

1283:12 2By 20:11abaagamba nti, “Ka tutwale

amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

1383:13 Zab 35:5; Is 17:13Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,

obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.

1483:14 Ma 32:22; Is 9:18Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;

n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,

1583:15 Yob 9:17naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,

obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.

1683:16 Zab 109:29; 132:18Baswaze nnyo,

balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

1783:17 Zab 35:4Bajjule ensonyi n’okutya,

bazikirire nga baswadde nnyo.

1883:18 Zab 59:13Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,

gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.