Zabbuli 80 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 80:1-19

Zabbuli 80

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

180:1 a Zab 77:20 b Kuv 25:22Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;

ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;

ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.

280:2 a Kbl 2:18-24 b Zab 35:23Amaanyi go galabike mu Efulayimu,

ne mu Benyamini ne mu Manase,80:2 Ebika ebyo ebisatu, bazzukulu ba Lakeeri; baagoberera Essanduuko y’Endagaano nga bakumba okulaga mu nsi ensuubize.

ojje otulokole.

380:3 a Zab 85:4; Kgb 5:21 b Kbl 6:25Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,

otutunuulize amaaso ag’ekisa,

otulokole.

4Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,

olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?

580:5 Zab 42:3; Is 30:20Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;

n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.

680:6 Zab 79:4Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,

n’abalabe baffe ne batuduulira.

7Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,

otutunuulize amaaso go ag’ekisa,

tulokolebwe.

880:8 a Is 5:1-2; Yer 2:21 b Yos 13:6; Bik 7:45Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;

n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.

9Wagulongooseza ettaka, ne gumera,

emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.

10Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,

n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.

1180:11 Zab 72:8Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati

n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

1280:12 Zab 89:40; Is 5:5Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,

abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?

1380:13 Yer 5:6Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,

na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.

1480:14 Is 63:15Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,

otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;

olabirire omuzabbibu guno.

15Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,

era ggwe weerondera omwana wo.

1680:16 Zab 39:11; 76:6Bagutemye, ne bagwokya omuliro;

abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.

17Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala

era omwana oyo gwe weerondera.

18Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.

Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,

otutunuulize amaaso go ag’ekisa,

tulyoke tulokolebwe.