Zabbuli 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 8:1-9

Zabbuli 8

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

18:1 Zab 57:5; 113:4; 148:13Ayi Mukama, Mukama waffe,

erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ekitiibwa kyo kitenderezebwa

okutuuka waggulu mu ggulu.

28:2 a Mat 21:16* b Zab 44:16; 1Ko 1:27Abaana abato n’abawere

wabawa amaanyi okukutendereza;

ne basirisa omulabe wo

n’oyo ayagala okwesasuza.

38:3 a Zab 89:11 b Zab 136:9Bwe ntunuulira eggulu lyo,

omulimu gw’engalo zo,

omwezi n’emmunyeenye

bye watonda;

48:4 Yob 7:17; Zab 144:3; Beb 2:6omuntu kye ki ggwe okumujjukira,

omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

58:5 Zab 21:5; 103:4Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;

n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.

68:6 a Lub 1:28 b 1Ko 15:25, 27*; Bef 1:22; Beb 2:6-8*Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:

byonna wabissa wansi w’ebigere bye,

7ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,

8n’ennyonyi ez’omu bbanga,

n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;

era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

98:9 nny 1Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi

era kkulu nnyo mu nsi yonna!