Zabbuli 79
Zabbuli ya Asafu.
179:1 a Zab 74:2 b 2Bk 25:9Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
ne kifuuka entuumo.
279:2 Ma 28:26; Yer 7:33Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
379:3 Yer 16:4Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
okwetooloola Yerusaalemi,
so nga abafudde tewali muntu abaziika.
479:4 Zab 44:13; 80:6Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
579:5 a Zab 74:10 b Zab 74:1; 85:5 c Ma 29:20; Zab 89:46; Zef 3:8Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
679:6 a Zab 69:24; Kub 16:1 b Yer 10:25; 2Bs 1:8 c Zab 14:4Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
obutakoowoola linnya lyo.
7Kubanga bazikirizza Yakobo,
ne basaanyaawo ensi ye.
879:8 a Is 64:9 b Zab 116:6; 142:6Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
tukusaba oyanguwe okutusaasira
kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
979:9 a 2By 14:11 b Zab 25:11; 31:3; Yer 14:7Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
olw’erinnya lyo.
1079:10 a Zab 42:10 b Zab 94:1Lwaki abamawanga babuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11Wuliriza okusinda kw’omusibe;
okozese omukono gwo ogw’amaanyi
owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
1279:12 a Is 65:6; Yer 32:18 b Lub 4:15Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
bawalane emirundi musanvu.
1379:13 a Zab 74:1; 95:7 b Zab 44:8Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.