Zabbuli 77
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
177:1 Zab 3:4Nnaakaabirira Katonda ambeere,
ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
277:2 a Zab 50:15; Is 26:9, 16 b Yob 11:13 c Lub 37:35Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
377:3 Zab 143:4Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
577:5 Ma 32:7; Zab 44:1; 143:5; Is 51:9Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
ne nzijukira emyaka egyayita.
6Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
777:7 Zab 85:1“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
naataddayo kutulaga kisa kye?
877:8 2Pe 3:9Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
977:9 a Zab 25:6; 40:11; 51:1 b Is 49:15Katonda yeerabidde ekisa kye?
Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
1077:10 Zab 31:22Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
1177:11 Zab 143:5Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
1377:13 Kuv 15:11; Zab 71:19; 86:8Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
1577:15 Kuv 6:6; Ma 9:29Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
1677:16 a Kuv 14:21, 28; Kbk 3:8 b Zab 114:4; Kbk 3:10Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
1777:17 Bal 5:4Ebire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
1877:18 Bal 5:4Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
1977:19 Kbk 3:15Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
2077:20 a Kuv 13:21 b Zab 78:52; Is 63:11Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.