Zabbuli 76 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 76:1-12

Zabbuli 76

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

1Katonda amanyiddwa mu Yuda;

erinnya lye kkulu mu Isirayiri.

276:2 Lub 14:18Eweema ye eri mu Yerusaalemi;

era abeera mu Sayuuni.

376:3 Zab 46:9Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;

n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

4Owa ekitangaala,

oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.

576:5 Zab 13:3Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,

beebaka ne batasobola kugolokoka,

ne watabaawo n’omu asobola

okuyimusa omukono gwe.

676:6 Kuv 15:1Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,

abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

776:7 a 1By 16:25 b Ezr 9:15; Kub 6:17 c Zab 2:5; Nak 1:6Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.

Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?

876:8 1By 16:30; 2By 20:29-30Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,

ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,

976:9 Zab 9:8bw’ogolokoka okusala omusango,

okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.

1076:10 Kuv 9:16; Bar 9:17Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,

n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.

1176:11 a Zab 50:14; Mub 5:4-5 b 2By 32:23; Zab 68:29Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;

bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,

kubanga asaanidde okutiibwa.

12Mukama akkakkanya abalangira,

ne bakabaka b’ensi bamutya.