Zabbuli 74 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 74:1-23

Zabbuli 74

Zabbuli ya Asafu.

174:1 a Ma 29:20; Zab 44:23 b Zab 79:13; 95:7; 100:3Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?

Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?

274:2 a Kuv 15:16 b Ma 32:7 c Kuv 15:13 d Zab 68:16Ojjukire abantu bo be wagula edda;

ekika kye wanunula okuba ababo.

Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.

3Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!

Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

474:4 a Kgb 2:7 b Kbl 2:2Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;

ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.

574:5 Yer 46:22Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi

abatema emiti mu kibira.

674:6 1Bk 6:18Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,

era ne babissessebbula n’obubazzi.

7Bookezza awatukuvu wo;

ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.

874:8 Zab 83:4Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”

Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

974:9 1Sa 3:1Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.

So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.

1074:10 Zab 44:16Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?

Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.

1174:11 Kgb 2:3Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?

Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

1274:12 Zab 44:4Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;

gw’oleeta obulokozi mu nsi.

1374:13 a Kuv 14:21 b Is 51:9; Ez 29:3Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;

omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.

14Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;

n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.

1574:15 a Kuv 17:6; Kbl 20:11 b Yos 2:10; 3:13Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;

ate n’okaza n’emigga

egyakulukutanga bulijjo.

1674:16 Lub 1:16; Zab 136:7-9Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;

ggwe wakola omwezi n’enjuba.

1774:17 a Ma 32:8; Bik 17:26 b Lub 8:22Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;

ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

1874:18 Ma 32:6; Zab 39:8Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,

n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.

1974:19 Zab 9:18Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;

so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.

2074:20 Lub 17:7; Zab 106:45Ojjukire endagaano yo;

kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.

2174:21 a Zab 103:6 b Zab 35:10Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;

era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.

2274:22 Zab 53:1Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.

Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.

2374:23 Zab 65:7Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,

n’okuleekaana okwa buli kiseera.