Zabbuli 73 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 73:1-28

EKITABO III

Zabbuli 73–89

Zabbuli 73

Zabbuli ya Asafu.

173:1 Mat 5:8Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri

n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

2Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala

era n’ebigere byange okuseerera.

373:3 a Zab 37:1; Nge 23:17 b Yob 21:7; Yer 12:1Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;

bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.

4Kubanga tebalina kibaluma;

emibiri gyabwe miramu era minyirivu.

573:5 Yob 21:9Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.

So tebalina kibabonyaabonya.

673:6 a Lub 41:42 b Zab 109:18Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,

n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.

773:7 Zab 17:10Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;

balina bingi okusinga bye beetaaga.

873:8 Zab 17:10; Yud 16Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.

Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.

9Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;

n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.

10Abantu ba Katonda kyebava babakyukira

ne banywa amazzi mangi.

11Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?

Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”

1273:12 Zab 49:6Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;

bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.

1373:13 a Yob 21:15; 34:9 b Zab 26:6Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,

n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.

14Naye mbonaabona obudde okuziba,

era buli nkya mbonerezebwa.

15Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,

nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.

1673:16 Mub 8:17Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;

nakisanga nga kizibu nnyo,

1773:17 a Zab 77:13 b Zab 37:38okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,

ne ntegeera enkomerero y’ababi.

1873:18 Zab 35:6Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;

obasudde n’obafaafaaganya.

1973:19 Is 47:11Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!

Entiisa n’ebamalirawo ddala!

2073:20 a Yob 20:8 b Zab 78:65Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;

era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,

bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.

21Omutima gwange bwe gwanyiikaala,

n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,

2273:22 a Zab 49:10; 92:6 b Mub 3:18n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,

ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;

gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.

2473:24 a Zab 48:14 b Zab 32:8Mu kuteesa kwo onkulembera,

era olintuusa mu kitiibwa.

2573:25 Baf 3:8Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?

Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.

2673:26 a Zab 84:2 b Zab 40:12Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;

naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,

era ye wange ennaku zonna.

2773:27 Zab 119:155Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;

kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.

2873:28 a Beb 10:22; Yak 4:8 b Zab 40:5Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.

Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;

ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 73:1-28

卷三:詩篇73—89

第 73 篇

上帝的公正審判

亞薩的詩。

1上帝實在善待以色列人,

恩待那些內心純潔的人。

2我卻身陷險地,

幾乎失腳跌倒。

3我看見狂傲的惡人亨通就心懷不平。

4他們一生平順,健康強壯。

5他們不像別人受苦,

不像世人遭難。

6他們把驕傲作項鏈戴在頸上,

把暴力作外袍裹在身上。

7他們胖得眼睛凸出,

心中充滿罪惡。

8他們譏諷嘲笑,言語惡毒,

狂妄地以暴力相威脅。

9他們褻瀆上天,詆譭大地。

10上帝的子民也跟隨他們,

聽從他們的話。

11他們說:

「上帝怎能知道?

至高者會察覺嗎?」

12看這些惡人,

他們總是生活安逸,財富日增。

13我潔身自愛,保持清白,

實屬徒然。

14我天天遭災,日日受苦。

15要是我這樣說,

我就是背叛了你的子民。

16我想明白這一切,

卻百思不得其解。

17直到我進入你的聖所,

才明白他們的結局。

18你把他們放在容易滑倒的地方,

使他們落入毀滅中。

19他們頃刻間被毀滅,

在恐怖中徹底滅亡。

20他們不過是人醒來後的一場夢。

主啊,你一行動,

他們必灰飛煙滅。

21我曾感到悲傷,心如刀絞。

22我當時愚昧無知,

在你面前如同畜類。

23然而,我一直和你在一起,

你牽著我的手引導我。

24你以諄諄教誨指引我,

以後必接我到榮耀中。

25除你以外,在天上我還有誰?

除你以外,在地上我別無愛慕。

26儘管我身心俱衰,

上帝永遠是我心中的力量,

永遠屬於我。

27那些遠離你的人必滅亡,

你必滅絕不忠於你的人。

28對於我,到上帝面前是何等美好。

我以主耶和華為我的避難所,

並宣揚祂的一切作為。