Zabbuli 71
171:1 Zab 25:2-3; 31:1Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
271:2 Zab 17:6Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
371:3 Zab 18:2; 31:2-3; 44:4Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
471:4 Zab 140:4Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
571:5 Yob 4:6; Yer 17:7Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
671:6 a Zab 22:10 b Zab 22:9; Is 46:3 c Zab 9:1; 34:1; 52:9; 119:164; 145:2Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
771:7 a Is 8:18; 1Ko 4:9 b 2Sa 22:3; Zab 61:3Eri abangi nafuuka;
naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
871:8 a Zab 51:15; 63:5 b Zab 35:28; 96:6; 104:1Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
971:9 a Zab 51:11 b nny 18; Zab 92:14; Is 46:4Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
1071:10 a Zab 10:8; 59:3; Nge 1:18 b Zab 31:13; 56:6; Mat 12:14Kubanga abalabe bange banjogerako;
abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
1171:11 Zab 7:2Bagamba nti, “Katonda amulese,
ka tumugobe tumukwate,
kubanga taliiko anaamuwonya.”
1271:12 a Zab 35:22; 38:21 b Zab 38:22; 70:1Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
yanguwa ojje ombeere.
1371:13 nny 24Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
abanoonya okunnumya baswale
era banyoomebwe.
1471:14 Zab 130:7Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
1571:15 Zab 35:28; 40:5Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
wadde siyinza kubupima.
1671:16 Zab 106:2Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
1771:17 a Ma 4:5 b Zab 26:7Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
1871:18 a nny 9 b Zab 22:30, 31; 78:4Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
1971:19 a Zab 36:5; 57:10 b Zab 126:2; Luk 1:49 c Zab 35:10N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
Ggw’okoze ebikulu,
Ayi Katonda, ani akwenkana?
2071:20 a Zab 60:3 b Kos 6:2Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
2171:21 a Zab 18:35 b Zab 23:4; 86:17; Is 12:1; 49:13Olinnyongerako ekitiibwa
n’oddamu okunsanyusa.
2271:22 a Zab 33:2 b Zab 92:3; 144:9 c 2Bk 19:22Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
2371:23 Zab 103:4Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
nga nkutendereza,
nze gw’onunudde!
2471:24 a Zab 35:28 b nny 13Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.