Zabbuli 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 7:1-17

Zabbuli 7

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

17:1 Zab 31:15Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:

ngobaako bonna abangigganya era omponye,

27:2 a Is 38:13 b Zab 50:22si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma

ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

37:3 1Sa 24:11; Is 59:3Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,

era ng’engalo zange ziriko omusango,

4obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,

oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:

5Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,

bankube wansi banninnyirire,

banzitire mu nfuufu.

67:6 a Zab 94:2 b Zab 138:7 c Zab 44:23Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.

Golokoka, Ayi Katonda wange,

onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.

7Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;

obafuge ng’oli waggulu ennyo.

87:8 Zab 18:20; 96:13Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,

asalira amawanga gonna emisango,

osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,

era n’amazima agali mu nze bwe gali.

97:9 a Zab 37:23 b Yer 11:20 c 1By 28:9; Zab 26:2; Kub 2:23Ayi Katonda omutukuvu,

akebera emitima n’emmeeme;

okomye ebikolwa by’abakola ebibi:

era onyweze abatuukirivu.

107:10 Zab 125:4Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;

alokola abo abalina omutima omulongoofu.

117:11 Zab 50:6Katonda mulamuzi wa mazima;

era alaga ekiruyi kye buli lunaku.

127:12 Ma 32:41Mukama awagala ekitala kye

n’aleega omutego gwe

ogw’obusaale.

13Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;

era akozesa obusaale obw’omuliro.

147:14 Yob 15:35; Is 59:4; Yak 1:15Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,

n’azaala obulimba.

157:15 Yob 4:8Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;

ate n’akigwamu ye kye yasimye.

16Emitawaana gye gimwebunguludde;

n’obukambwe bwe bumuddire.

177:17 a Zab 71:15-16 b Zab 9:2Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;

nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.