Zabbuli 69 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 69:1-36

Zabbuli 69

Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.

169:1 Yon 2:5Ondokole, Ayi Katonda,

kubanga amazzi gandi mu bulago.

269:2 Zab 40:2Ntubira mu bitosi

nga sirina we nnywereza kigere.

Ntuuse ebuziba

n’amataba gansaanikira.

369:3 a Zab 6:6 b Zab 119:82; Is 38:14Ndajanye ne nkoowa,

n’emimiro ginkaze.

Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye

olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.

469:4 a Yk 15:25* b Zab 35:19; 38:19Abo abankyayira obwereere

bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;

abalabe bange bangi

abannoonya okunzita awatali nsonga;

ne mpalirizibwa mbaddizeewo

ekyo kye sibbanga.

569:5 a Zab 38:5 b Zab 44:21Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,

n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.

6Sisaana kuswaza

abo abakwesiga,

Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.

Abo abakunoonya

baleme kuswazibwa ku lwange,

Ayi Katonda wa Isirayiri.

769:7 a Yer 15:15 b Zab 44:15Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,

n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.

869:8 Zab 31:11; Is 53:3Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,

munnaggwanga eri abaana ba mmange.

969:9 a Yk 2:17* b Zab 89:50-51; Bar 15:3*Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,

n’abo abakuvuma bavuma nze.

1069:10 Zab 35:13Bwe nkaaba ne nsiiba,

ekyo nakyo ne kinvumisa.

1169:11 Zab 35:13Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.

1269:12 Yob 30:9Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,

era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

1369:13 a Is 49:8; 2Ko 6:2 b Zab 51:1Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,

mu kiseera eky’ekisa kyo.

Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,

ondokole nga bwe wasuubiza.

1469:14 nny 2; Zab 144:7Onnyinyulule mu ttosi

nneme okutubira;

omponye abankyawa,

onzigye mu mazzi amangi;

1569:15 a Zab 124:4-5 b Kbl 16:33amataba galeme okumbuutikira

n’obuziba okunsanyaawo,

n’ennyanja ereme okummira.

1669:16 Zab 63:3Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;

onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.

1769:17 a Zab 27:9 b Zab 66:14Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,

kubanga ndi mu kabi.

1869:18 Zab 49:15Onsemberere onziruukirire,

onnunule mu balabe bange.

1969:19 Zab 22:6Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,

era n’abalabe bange bonna obamanyi.

2069:20 a Yob 16:2 b Is 63:5Okusekererwa kunkutudde omutima

era kummazeemu amaanyi.

Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,

n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.

2169:21 Mat 27:34; Mak 15:23; Yk 19:28-30Mu kifo ky’emmere bampa mususa,

era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

22Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,

n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.

2369:23 Is 6:9-10; Bar 11:9-10*Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,

n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.

2469:24 Zab 79:6Bayiweeko ekiruyi kyo,

obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.

2569:25 a Mat 23:38 b Bik 1:20*Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,

waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.

2669:26 Is 53:4; Zek 1:15Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,

ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.

2769:27 a Nek 4:5 b Zab 109:14; Is 26:10Bavunaane omusango kina gumu,

era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.

2869:28 a Kuv 32:32-33; Luk 10:20; Baf 4:3 b Ez 13:9Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;

baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.

2969:29 Zab 59:1; 70:5Ndi mu bulumi era mu nnaku;

obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.

3069:30 a Zab 28:7 b Zab 34:3Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;

nnaamugulumizanga n’okwebaza.

3169:31 Zab 50:9-13Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,

oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.

3269:32 a Zab 34:2 b Zab 22:26Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;

mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.

3369:33 Zab 12:5; 68:6Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,

era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

3469:34 Zab 96:11; 148:1; Is 44:23; 49:13; 55:12Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga

awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.

3569:35 a Ob 17 b Zab 51:18; Is 44:26Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,

n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,

abantu ne babibeerangamu nga byabwe.

3669:36 Zab 37:29; 102:28Abaana b’abaweereza be balikisikira;

n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.