Zabbuli 68 – LCB & NSP

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 68:1-35

Zabbuli 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

168:1 Kbl 10:35; Is 33:3Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,

n’abo abamukyawa bamudduke.

268:2 a Kos 13:3 b Is 9:18; Mi 1:4Ng’empewo bw’efuumuula omukka,

naawe bafuumuule bw’otyo;

envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,

n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!

368:3 Zab 32:11Naye abatuukirivu basanyuke

bajagulize mu maaso ga Katonda,

nga bajjudde essanyu.

468:4 a Zab 66:2 b Ma 33:26 c Kuv 6:3; Zab 83:18Muyimbire Katonda,

muyimbe nga mutendereza erinnya lye;

mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.

Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.

568:5 a Zab 10:14 b Ma 10:18 c Ma 26:15Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;

ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.

668:6 a Zab 113:9 b Bik 12:6 c Zab 107:34Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,

aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;

naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

768:7 Kuv 13:21; Bal 4:14Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,

n’obayisa mu ddungu,

868:8 a Bal 5:4 b Kuv 19:16, 18ensi yakankana,

eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;

n’olusozi Sinaayi ne lukankana

awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!

968:9 Ma 11:11Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;

ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;

1068:10 Zab 74:19abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,

abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.

11Mukama yalangirira;

ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:

1268:12 Yos 10:16“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;

abantu ne bagabana omunyago.

1368:13 Lub 49:14Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!

Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa

ebiwaawaatiro byalyo.”

1468:14 Yos 10:10Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,

ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.

15Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;

ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!

1668:16 Ma 12:5Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?

Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?

Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.

1768:17 Ma 33:2; Dan 7:10Mukama ava ku lusozi Sinaayi

nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi

n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.

1868:18 a Bal 5:12 b Bef 4:8*Bwe walinnyalinnya olusozi,

ng’abanyage bakugoberera;

abantu ne bakuwa ebirabo

nga ne bakyewaggula mwebali;

bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.

1968:19 a Zab 65:5 b Zab 55:22Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,

eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.

2068:20 Zab 56:13Katonda waffe ye Katonda alokola;

era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.

2168:21 Zab 110:5; Kbk 3:13Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,

kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.

2268:22 Kbl 21:33Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,

ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,

2368:23 a Zab 58:10 b 1Bk 21:19mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,

n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

2468:24 Zab 63:2Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,

balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;

2568:25 Bal 11:34; 1By 13:8abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega

ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.

2668:26 Zab 26:12; Is 48:1Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;

mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.

2768:27 1Sa 9:21Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,

ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,

n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,

otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.

2968:29 Zab 72:10Bakabaka balikuleetera ebirabo

olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.

3068:30 a Zab 22:12 b Zab 89:10Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,

eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.

Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.

Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.

3168:31 Is 19:19; 45:14Ababaka baliva e Misiri,

ne Kuusi aligondera Katonda.

32Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.

Mutendereze Mukama.

3368:33 a Zab 18:10 b Zab 29:4Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,

eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.

3468:34 Zab 29:1Mulangirire obuyinza bwa Katonda,

ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;

obuyinza bwe buli mu bire.

3568:35 a Zab 29:11 b Zab 66:20Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.

Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.

New Serbian Translation

Псалми 68:1-35

Псалам 68

Хоровођи. Давидов. Псалам. Песма.

1Нека Бог устане,

нека се разиђу његови душмани!

Нека се разбеже пред њим они што га мрзе!

2Развеј их попут дима развејаног;

нек пропадну зликовци пред Богом

као восак истопљен у ватри.

3А праведни нека се радују,

нек пред Богом кличу,

нек ликују у весељу.

4Певајте Богу,

певајте славопој његовом имену;

уздигните оног што на облацима јаше.

Његово је име Господ,

ускликните пред њим.

5Отац сирочади и судија удовица –

то је Бог у свом светом Пребивалишту.

6Бог усамљенима даје да у кући живе,

заточене води благостању,

а бунтовници боравиће у спарушеној земљи.

7Боже, кад си ишао испред свог народа,

када си ступао пустињом, Села

8земља се тресла, небеса су пљуштала,

пред Богом, Богом синајским,

пред Богом, Богом Израиљевим.

9Боже, обиље си кише послао наследству своме;

уморно је оно било, а ти си га ојачао.

10Живаљ твој се онде настанио,

снабдеваш убогог добрима својим, Боже.

11Господ објављује,

а жена што носе вести велико је мноштво.

12Цареви и војске беже ли беже,

а лепотица куће плен раздељује.

13Ако и легнеш између торова,

ти си голубица крила обложених сребром,

и перја светлуцаво златног.

14Кад Свемоћни распрши цареве у земљи,

паде снег на Салмону.

15Гора Божија васанска је гора,

гора с врховима васанска је гора.

16Зашто завидно гледате, о, горе,

врхове горе коју Бог жели за боравиште своје;

где ће Господ зацело довека да пребива?

17Божијих је кола на хиљаде,

на многе хиљаде;

а Господ је међу њима,

на Синају, у светости.

18Ти се попе на висину,

поведе робље силно,

прими дарове од људи,

па чак и од бунтовника;

да пребиваш тамо,

Господе Боже.

19Благословен да је Господ,

што терете наше дан за даном носи,

Бог нашег спасења. Села

20Бог наш Бог је дела спасоносних,

од Господа Бога избављење је од смрти.

21Зацело ће Бог разбити главу својих противника,

и космато теме оног који живи у својим гресима.

22Господ каже: „Са Васана вратићу их,

из дубина мора вратићу их,

23па да ти нога гаца у крви

и језик твојих паса добије свој део од твојих противника.“

24Видеше поворке твоје, Боже;

поворке Бога мога, мога цара ка Светињи.

25Напред су ишли певачи, потом свирачи,

а у средини су девојке ударале даире.

26Благосиљајте у зборовима Бога Господа,

ви са врела Израиљева!

27Ено, млади Венијамин предводи их,

главари Јуде са мноштвом,

главари Завулона и главари Нефталима.

28Твој Бог снагу ти је одредио;

покажи снагу своју, Боже, што си за нас деловао.

29Због твог Дома у Јерусалиму

цареви ће ти дарове доносити.

30Запрети зверима у трсци,

крду бикова међу теладима народа;

па нек се понизе и донесу комаде сребра,

а он ће расути народе што у рату уживају.

31Доћи ће изасланици из Египта,

Куш журно пружа руке своје Богу.

32О, царства земаљска, певајте Богу;

певајте славопој Господу; Села

33ономе што јаше небом, древним небесима!

Ено, он тутњи гласом својим, гласом силним.

34Препознајте силу Божију над Израиљем,

величанство његово

и његову силу у небесима.

35Ти си страшан, Боже, у Светилишту своме;

Бог Израиљев сам даје силу и снагу народу.

Благословен да је Бог!