Zabbuli 67
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
167:1 Kbl 6:24-26; Zab 4:6Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
267:2 a Is 52:10 b Tit 2:11Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
467:4 Zab 96:10-13Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
667:6 Lv 26:4; Zab 85:12; Ez 34:27Ensi erireeta amakungula gaayo;
era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
767:7 Zab 33:8Katonda anaatuwanga omukisa;
n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.